
Bya Ssemakula John
Kampala – Kyaddondo
Akulira ekibiina ki National Unity Platform (NUP), Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) ategeezezza nti abantu be Karamoja mu kiseera kino beetaaga obuyambi bw’emmere nabuli ngeri kuba bangi bakyagenda mu maaso n’okutondoka olw’enjala.
Bino Kyagulanyi yabyogedde awaayo ttani z’emmere n’ebijjanjalo eri Abakaramoja olunaku lw’eggulo okusobola okubataasa ku mbeera eno nasaba ne bannayuganda abalala okubaduukirira nakatono kebalina.
“Fenna tukimanyi nti bannayuganda tebalina kyakulya wadde Karamoja yeesinze okukosebwa. Naye Gen Museveni ne banne batunuulidde kimu ngeri gyebasobola kwongera kwegagawaza nakulemera mu buyinza awatali kufaayo ku bantu be Karamoja ne bannayuganda abalala,” Kyagulanyi bwe yagambye.
Ono yalabudde nti mubanga ttono, bannayuganda bajja kuwulira nti obusente obutono obwaweereddwayo okuyambako ku bantu bano nti ate bubbiddwa oba babukozesezza ebirala.
Okusinziira ku Kyagulanyi, ebbeeyi y’emmere eri waggulu etadde bannayuganda mu kaseera akazibu nga bangi tebakyasobola kulya mmere egwanidde.
Okusinziira ku kitongole ki ‘Intergrated Food Security Phase Classification (IPC) kigamba ekitundu kiramba ku bantu ababeera e Moroto bamalako olunaku lulamba nga tebalabye ku kakulya nga kino kibeerawo ennaku satu nnamba mu mwezi ekintu ekyongedde okwelariikiriza.
Aba IPC bagamba abantu 518,000 ( by’ebitundu 40 ku buli 100) e Karamoja bali mu katyabaga k’enjala nga omuwendo guno gulinnye okuva ku bantu 361,000 (ebitundu 30 ku 100) mu 2021.
Bino webijjidde nga Ssaabaminisita Robinah Nabbanja ku Lwokubiri yalaze nga gavumenti bwewaddeyo obuwumbi 135 okukola ku njala eri mu kitundu kino.









