Bya Ssemakula John
Kampala – Kyaddondo
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni alagidde Minisitule y’ebyensimbi okuwaayo obuwumbi 630 eza silingi za Uganda okusobola okukola enteekateeka y’okwongera abajaasi omusaala awamu n’okuwummuza abamu ku bakulu mu ggye lya UPDF nakasiima akeegasa.
Abajaasi abagenda okuwummula bawera 34 nga bano bali ku ddaala lya Genero nga mu bano mulimu Gen David Sejusa, Gen Elly Tumwine awamu ne Lt Gen Proscovia Nalweyiso.
Abalala kuliko; Lt Gen John Mugume, Lt Gen Andrew Gutti, Maj Gen Stephen Kashaka, Maj Gen Phinehas Katirima, Maj Gen Elly Kayanja, Maj Gen Michael Ondoga, Maj Gen Gavas Mugyenyi, Brig Stephen Kwiringira awamu n’abalala.
Kino kiddiridde olukiiko olukulu olw’ amagye okutuula nga lukubirizibwa omuduumizi ow’okuntikko era Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni nebakkaanya okusiibula abamu ku bajaasi n’okulinyisa omusaala nga batandikira ku bakulu kuba ennamba yabwe ntono.
Ensonda mu magye zigamba nti Pulezidenti Museveni yannyonnyodde nti bagenero bano baweereza eggwanga okumala akaseera nga beetaaga okusiibulwa obulungi kuba webagira mu buyinza eggwanga teryalina ssente era babadde babeerawo ku busente butono n’omwoyo gwe ggwanga lyabwe.
“ Bano batono nnyo, era baweereza eggwanga lyabwe akadde konna, tewali nsonga lwaki tetubasiibula bulungi,” Museveni bw’agambibwa okutegeeza.
Okusinziira ku byavudde mu lukiiko abajaasi bagenda kwongezebwa ebitundu 100 ku 100 nga kati Genero ajja kuba afuna omusaala gwa bukadde 15 ate Brigadier afune obukadde 10.
Omwogezi w’amagye, Brig. Felix Kulayigye yayise mu kiwandiiko ku Lwokubiri nakakasa nti beetaaga obuwumbi 630 okusobola okuggusa enteekateeka zino.
Brig Kulayigye agamba nti bataddewo akakiiko okuva mu Minisitule y’ebyokwerinda nga kakulirwa Omuwandiisi ow’enkalakalira naba Minisitule y’abakozi okutunula mu nsimbi ezirina okwongera ku musaala gw’ abajaasi.
“Olukiiko lwasemba eky’okwongera abajaasi omusaala n’ebitundu 100 ku 100 nga lutandika n’abajaasi abakulu kuba bano batono era baluddewo nga baweereza era abamu ku bano bagenda kuwummula mu mwaka gw’ebyensimbi guno ogwa 2022/2023,” Kulayigye bwe yagasseeko.
Ono alaze nti beetaaga obuwumbi 517.9 okukola ku kwongeza omusaala ate obwumbi 116.8 kusiibula abakulu abagenda okuwummula nga mu mwaka guno gwonna beetaaga obuwumbi 634.8 okuggusa enteekateeka y’okwongeza abajaasi omusaala n’okuwummuza abanene.
Kulayigye yalambise nti enteekateeka eno eyinza okubaawo omwaka gw’ebyensimbi okujja kuba embalirira y’omwaka guno yamala dda okuyisibwa ng’enteekateeka eno teriimu.
Ono era yakakasizza nga abajaasi bonna abali ku ddaala lya Kapiteeni ababadde basuubirwa okuwummula bwebayimiriddwa okutuuka nga enteekateeka eno eteekeddwa mu nkola mu mwaka gw’ebyensimbi ogujja ogwa 2023/2024.
Kulayigye agamba nti era singa ensimbi ezirina okusiibula abakulu abayogeddwako waggulu zinaabula bajja kwongerayo enteekateeka eno okutuusa omwaka ogujja.