Bya Ssemakula John
Kampala – Kyaddondo
Abasuubuzi abeegattira mu kibiina ki Kampala City Traders Association (KACITA), balaajanidde gavumenti ebataase ku mabanja gebalina mu bbanka ez’enjawulo agabatuuse mu bulago nebatandika nokusuulawo bizineensi zabwe.
Bano nga bakulembeddwamu Ssentebe wa KACITA Uganda Thadeus Musoke bagamba nti abasuubuzi ebitundu 70% bebalamereddwa okusasula amabanja gaabwe nga boolekedde kuva mu bizinensi bagende bakole ebirala kuba embeera ebayinze.
Kinajjukirwa nti eggwanga bwelyali ku muggalo, abasuubuzi basaba Pulezidenti Yoweri Museveni okubakwasizaako ku mabanja gebalina mu bbanka era nebasaba bongerwe ku kadde okutuusa nga eggwanga liguddwawo basobole okunoonya ssente ezibabanjibwa.
Ssentebe Musoke agamba nti bbanka zitandise okuwamba ebintu byabwe nga tebamanyi kyebagenda kuzaako kuba bannabwe abamu baggaddewo nebadda mu kyalo nasaba gavumenti eyingire mu nsonga zaabwe.
Musoke ategezezza nti bazze batuula ne gavumenti enfuna eziwera okunogera ekizibu kino eddagala wabula abakulu mu gavuenti bagaana okubawuliriza kyokka nga obukwakkulizo bbanka zebwateekawo buzibu nnyo nga bwetaaga okutunulwamu.