• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Buganda ekungubagidde Omuzaana Mary Nankumbi Ssimbwa

Gambuuze by Gambuuze
July 12, 2022
in Amawulire
0 0
0
Buganda ekungubagidde Omuzaana Mary Nankumbi Ssimbwa
0
SHARES
47
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Lubaga – Kyaddondo

Obwakabaka bwa Buganda bukungubagidde omuzaana w’omulangira David Alexander Ssimbwa eyaseerera Ssaabiiti ewedde  nebwebaza Katonda olw’obulamu bwe wamu n’okumukozesa ebirungi eri ensi ye.

Bino bibadde mu kusabira omubiri gw’omugenzi mu lutikko e Namirembe ku Lwokubiri ng’ omukolo guno gwetabiddwako Katikkiro Charles Peter Mayiga awamu n’abakungu abalala.

Omulangira David Alexander Ssimbwa, yali muganda wa Ssekabaka Edward Muteesa II. Yaseerera mu mwaka ogwa 2014, n’aterekebwa mu Masiro e Kasubi.

Bw’abadde ayogera ku mugenzi, Katikkiro wa Buganda, Oweek. Charles Peter Mayiga, agambye nti Omuzaana ono aleze Abalangira n’Abambejja awamu n’abazzukulu ab’Olulyo Olulangira, okuviira ddala mu kaseera akazibu olubiri bwe lwa lumbibwa n’Obwakabaka ne buwerebwa okutuuka w’afiiridde.

Kamalabyonna Charles Peter Mayiga ategeezezza abakungubazi nti akasambattuko aka 1966 kaakosa nnyo ab’Olulyo Olulangira nga bangi battibwa, abalala ne basibwa mu makomera ate n’abalala ne bawangaangukira mu nsi endala.

Owek. Mayiga agambye nti abaasigala nga bagumu, beebo abalina ababeezi abeesimbu nga Mary Nankumbi, eyabeera ku lusegere lwa bba n’amugumya okutuusa Omulangira lwe yaseerera.

Yeebazizza Omugenzi olw’okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwe ng’omuzadde mu ngeri gye yalera mu Abalangira, Abambejja n’Abazzukulu ab’Olulyo Olulangira.

Omukolo gw’okusaba gwakulembeddwamu  Omulabirizi w’e Namirembe eyawummula, Bishop Samuel Balagadde Ssekadde, asabye bonna abakwatibwako okukumaakuma abaana b’enju y’omugenzi Ssimbwa babeere bumu.

Omulabirizi akuutidde  abakkiriza okukolerera obulamu obw’omu ggulu kuba bwe businga omugaso.

Kulw’abaana, Omulangira Joseph Mulondo, muzukulu w’Omulangira David Alexander Ssimbwa, yeebazizza nnyo nnyaabwe olw’okubagaala n’okubagunjula obulungi.

Okusaba kwetabiddwako, Katikkiro eyawummula Owek. Joseph Mulwanyammuli Ssemwogerere, Minisita w’Olukiiko eyawummula Oweek. Christine Mugerwa Kasule, Ssaabalangira Godfrey Musanje Kikulwe, Abalangira n’Abambejja, Hon. Godfrey Kiwanda Ssuubi, n’abantu abalala bangi.

Omugenzi afiiridde ku myaka 85, era wakuterekebwa mu Masiro ge Kasubi olwaleero

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist