• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

 Poliisi egamba abatemudde CAO Ogwanga babadde tebamumanyi, bakubye amasasi 26

Gambuuze by Gambuuze
July 11, 2022
in Amawulire
0 0
0
 Poliisi egamba abatemudde CAO Ogwanga babadde tebamumanyi, bakubye amasasi 26
0
SHARES
55
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Kampala – Kyaddondo

Ebipya bizuuse ku batemu abasse abadde akulira abakozi ba gavumenti mu disitulikiti ye Bukwo, Charles Ogwanga era poliisi egamba nti bano babadde tebamumanyi era kata abasimattuke singa teyabadde waleti ye .

Bw’abadde ayogerako eri bannamawulire, omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga  agambye nti bano oluvannyuma lw’okukitegeera nti ye Ogwanga gwebabadde banoonya,  emmotoka ye bagikubye amasasi 26.

Kino kiddiridde abatemu, okukuba emmotoka Ogwanga gyeyabadde atambuliramu ku luguudo lwa Bombo  n’emmotoka ye nekwata omuliro, ono yaddusiddwa mu ddwaliro ly’amagye e Bombo gyeyafiiridde.

Okusinziira ku Enanga, poliisi byeyazudde biraga nti ku lunaku lwennyini lwebamulumba, Ogwanga yali ava Bukwo nga agenda Mbale ne ddereeva we Eric Chemsto era baali mu mmotoka ya gavumenti nnamba UG 0865Z era bweyatuuka e Mbale yali ayagala kusooka kugenda Lira kyokka oluvannyuma yasalawo okudda e Kampala.

Yalina ensonga ez’okukolako e Buziga, Kisasi, Bweyogerere awamu ne Kireka era poliisi egamba nti yamaze dda okumanya abantu abasisinkanako ne Ogwanga mu kaseera nga ali Kampala.

Oluvannyuma lw’ensisinkano zino, Ogwanga yaleka ddereeva w’ e Kireka olwo nayolekera oluguudo oludda e Bombo era kkamera za poliisi zamukwata e Bwaise nga mu mmotoka alimu yekka, wuuyo Bwaise, Kawempe ne Kagoma gyeyamala essaawa emu n’ekitundu.

Enanga agamba nti kkamera ziddamu okumukwata nga ali Kiryagonja  awamu ne Kiryowa gyeyasanga abatemu nebamuyimiriza.

“Bweyayimiriza emmotoka , abasajja basemberera emmotoka ye nebamubuuza wa Mw. Ogwanga gyasigadde, yabaddamu nti ye ddereeva era wano bafuna Waleti era nebamuggyako n’essimu ye era wano webakakasizza nti gwebabadde balinda era wano baddako emabega nebatandika okumukuba amasasi,”  Enanga bw’agambye.

Poliisi etegeezezza nti bino byabategeezeddwa omu ku basawo mu ddwaliro e Bombo Military Hospital eyakola ku mugenzi nga yakatuusibwayo.

Bano bannyonnyodde nti baliko byebafunye okuva ku bantu abalala babiri abaali batambulira ku Pikipiki nnamba UFF 849F nga nabo bali badda Bombo mu kaseera ettemu lino welyabeererawo.

Poliisi egamba nti amasasi olwavuga bano basuulawo Pikipiki nebeyokya ensiko okutaasa obulamu naye omu ku bo yalina essimu era byonna ebyakolebwa yabikwata ku ssimu ye.

Enanga akakasizza nti ettemu lino lyali litegeke era si bubbi nga bwebasooka okulowooza, ono agasseeji nti baliko abantu 4 bebakutte omuli ddereeva wa Ogwanga awamu n’omuntu omulala gwebasanga mu nsiko nga ettemu lino lyakabaawo.

Share this:

Tags: Bombo RoadBukwo districtCAO Charles Ogwanga
  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.