Bya Ssemakula John
Ssese – Kalangala
Katikkiro Charles Peter Mayiga asabye abantu yonna gyebali okwewala okubeera mu by’obufuzi buli kadde bweba baagala okugenda mu maaso n’okukolerera abantu babwe.
Obubaka buno Katikkiro Mayiga abuweeredde mu nsisinkano gyabaddemu n’abakulembeze ba disitulikiti ye Kalangala omuli aba gavumenti eyawakati, bannaddiini awamu n’Obwakabaka ku kitebe kya disitulikiti ku Lwokusatu.
Ensisinkano eno yeetabiddwamu ne Minisita w’ensonga z’Obwapulezidenti Milly Babalanda awamu n’abakungu abalala abakwatibwako ku nsonga za Mukenenya.
“Abakulembeze abalondebwa obubaka buno mubutuuse ku bantu, tetujja kuba nti twogera byabufuzi buli kaseera, eby’obufuzi bikooya nnyo so nga wali ensonga ezikwata ku bantu nga eby’obulamu,” Kamalabyonna Mayiga bw’agambye.
Owek. Mayiga abakulembeze ku mitendera gyonna abasabye okukola ku bizibu by’ebitundu byabwe nga Ssese baleme kulinda kuyambibwako buli kadde kuba ebimu ku bino bisobola bulungi okunogerwa eddagala era nasaba bannaddiini okwenyigira mu lutalo lw’okumalawo Mukenenya mu ggwanga.
Ono asabye gavumenti ezimbire abasawo abakolera ku bizinga era babazimbire n’amasomero awamu n’ebintu ebirala ebisobola okubanguyiza obulamu.
Ate Minisita w’ensonga z’Obwapulezidenti, Milly Babalanda ategeezezza nti Obwakabaka bukoze nnyo okulaba nti ekirwadde ki Mukenenya bakimala amaanyi era nasaba wabeerewo obumu ne gavumenti eyawakati okusobola okugenda mu maaso ku nsonga eno.
Babalanda agamba nti aba Ssese tebalina kweyibaala kuba ekirwadde kino kikyaliwo mu bantu era nabasaba okukozesa enkulaakulana eri e Kalangala okusobola okwekulaakulanya n’okutumbula embeera zaabwe.
Olwa leero ku Lwokusatu lweziweze ennaku 3 nga Katikkiro Mayiga, Minisita w’ebyobulamu mu Buganda, Owek. Prosperous Nankindu Kavuma n’abakungu abalala nga basimbye amakanda mu bizinga bye Kalangala okubunyisa enjiri y’okulwanyisa ekirwadde ki Mukenenya wakati mu nteekateeka Beene gyalina okukimalawo mu 2030.