
Bya Ssemakula John
Bugoma – Ssese
Katikkiro Charles Peter Mayiga asabye abantu ba Kabaka abawangaalira mu bizinga bye Ssese batandikire ku baana abato naddala ab’obuwala bweba baagala okuwangula olutalo ku Mukenenya.
Owek. Mayiga ategeezezza nti abaana bano bwebabeera abalamu n’emigigi eginajja gijja kusobola okubeera nga miramu bwatyo neyeebaza abo bonna abagezezaako okusomesa abaana abato ebikwata ku Mukenenya n’engeri gyebasobola okumwerindamu.
Obubaka buno Katikkiro Mayiga abuweeredde ku ssomero lya lya St. Simeon Bugoma Primary School e Ssese ku Mmande gyeyagenze ku mulimu gw’okwongera amaanyi mukulwanyisa ekirwadde ki Mukenenya.

“Abaana bano kikulu nnyo okubakuuma ate omulimu ogwo nga gutandikira ku ffe abasajja naddala abasomesa abasajja abasomesa mu ssomero eririmu abawala. n’abasajja abaana be basanga mu makubo n’obutale nga babagambye okugulayo engege. Musajja munnange leka mwesitaza mwana muto,” Owek. Mayiga bw’ategeezezza.
Akunze banna Ssese obutakkiriza bantu baseegu mu kitundu kyabwe era batangire empisa z’okukabasanya n’okutigatiga abaana abawala abato bwatyo nasaba bafuuke eky’okulabirako era bafuule Ssese ensibuko y’abasajja abalimu ensa.
Okusinziira ku Katikkiro Mayiga olutalo luno terugenda kukoma ku baana bawala bokka naye n’abalenzi kuba nabo obulamu bwabwe buli mu matigga.

E Kalangala Katikkiro Mayiga ayaniriziddwa Omwami wa Kabaka, Kweba Augustine Kasirye n’abakulembeze b’ekitundu kino abawerako.
Owek. Mayiga e Ssese agenda kumalayo ennaku eziwerako mu kaweefube w’okulwanyisa okusaasaana kw’obulwadde bwa Mukenenya mu bizinga era asuubira okutuuka mu bizinga eby’enjawulo ebikola essaza Ssese.
Bino webijjidde nga Kalangala yeemu ku disitulikiti ezisingamu ekirwadde ki Mukenenya mu Buganda nga kirowoozebwa nti kino kiva ku ngeri abavubi gyebeeyisaamu awamu n’ebyobulamu ebikyali wansi ku bizinga ebikola Kalangala.









