Bya Ssemakula John
Kampala
Ssaabasumba w’essaza ekkulu erye Kampala Paul Ssemogerere aweereddwa ekyambalo ekimukakasa ku bwa Ssaabasumba ekiyitibwa Paliyam.
Ekyambalo kino kimwambaziddwa Paapa Francis mu missa y’olunaku lw’omutukuvu Paul ne Petero mu eklezia ya St. Peter’s Basilica e Vatican mu Roma.
Emmisa eno eyimbiddwa pope Francis etandiise nakusinza Katonda wakati mu maloboozi amasenekerevu okuva mu kkwaaya, n’abasumba okuva mu mawanga ag’enjawulo n’abantu ba Katonda abalala.
Mu missa eno pope Francis mwasinzidde nategeza nti Eklezia kifo kya bulyomu omuli abanaku, abaggaga abonoonyi nabantu abebiti byonna era nasaba abantu ba Katonda bulijjo okwaniriza abantu awatali kwelabira.
Paapa era ateegezeza nti eklezia terimu mitendera nga buli muntu yenkanakana ne munne awatali kusosola.
Oluvanyuma ba Ssaabasumba abawerera ddala 44 okuva mu mawanga 32 baweereddwa ebyambalo ekibakakasa kubwa Ssaabasumba ekiyitibwa Paliyam nga mubatuuse ku kkula lino mwemuli ne ssabasumba wessaza ekkulu erye Kampala Paul Ssemogerere.
Abalala bavudde mu bitundu ebyenjawulo okuli; Italy, Malawi, Congo, Uganda, Argentina, Molovia n’amalala.