Bya Ssemakula John
Kampala – Kyaddondo
Kkooti ejulirwamu egobye okusaba okwassibwayo ababaka Muhammad Ssegirinya owa Kawempe North ne Allan Ssewanyana owa Makindye West, nga bawakanya ensala yómulamuzi wa kooti enkulu e Masaka, Lawrence Tweyanze, eyagaana okubayimbula ku kakalu ka kkooti.
Omulamuzi Tweyanze yali yategeeza nti emisango egibavunaanibwa gya Nnaggomola era nga ababaka bano basobola okubaako engeri gyebataataaganya okunoonyereza okugenda mu maaso ku misango gino singa bayimbulwa.
Abalamuzi ba kkooti ejulirwamu nga bakulembeddwamu Cheborion Barishaki bategeezezza nti abasibe bano tebaalina ddembe lya kujulira ku kugaanibwa okweyimirirwa wabula baalina kuddayo mu kkooti eyabama okweyimirirwa nebalaba oba bakkirizibwa so si kugenda mu kkooti ejulirwamu kuba tewali musango gwonna gwali gusaliddwa.
Abalamuzi bano basabye oludda oluwaabi okwanguya okunnoonyereza mu musango guno bano basobole okutandika okwewozaako.
Munnamateeka wa bano, Samuel Muyizzi ategeezezza nti tebagenda kupondooka okutuusa nga amateeka gateekeddwamu ekitiibwa negakola ekyo kyennyini ekyagateekesaawo kuba abali mu gavumenti bakozesa kkooti okulinyirira Ssemateeka.
“Tulabye kkooti nga zikozesa amateeka agakolebwa Palamenti n’amateeka amalala okukugira eddembe ly’obuntu ery’obwebange kyokka nga lino lyamuwendo okwenkana obulamu bw’omuntu bwennyini awamu n’eddembe ly’okuwozesebwa mu bwangu era mu bwenkanya nga Ssemateeka bw’alagira,” Munnamateeka Muyizzi bw’agambye.
Muyizzi ategeezezza nti kati bakuddukira mu kkooti etaputa Ssemateeka basobole okutaasa ennyingo 23 ne 28 eziwa abantu eddembe lyabwe kuba kkooti zitandise okuwuliriza bannabyabufuzi.
Munnamateeka Muyizzi annyonnyodde nti ensala ya kkooti ejulirwamu gyekoze olwa leero eraze nti kiri mu mateeka era kkooti zikkirizibwa okukuumira abantu mu makomera ebbanga lyeyagala ku biragiro bya gavumenti era nawera nti kino bakukiwakanya era balage kkooti ekituufu.
Ono agamba nti kati kkooti erina obuyinza okuggyako abantu eddembe lyabwe okweyimirirwa kyagamba nti si kyekyali ekigendererwa kya abantu ababaga Ssemateeka era nategeeza nti buvunaanyizibwa bwabwe okulaba nti abasibe bano abagenda okuweza omwaka mu nkomyo bafuna eddembe lyabwe eribaweebwa Ssemateeka.
Mu ngeri yeemu kkooti ewozesa Bakalintalo e Kololo egaanye okukkiriza okusaba kwabwe okweyimirirwa mu mateeka oluvannyuma lw’okuddamu okukwatibwa nga bayimbuddwa, kkooti eno etegeezezza nti wadde bakwatibwa bubi naye ate mu kkomera baliyo mu mateeka.