
Bya Francis Ndugwa
Masaka – Buddu
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye naggulawo empaka z’omupiira gw’Amasaza ez’omwaka 2022, nga omupiira ogugguddewo gubadde wakati wa Buddu ne Mawogola nga guyindidde mu kisaawe kya Masaka Recreational Grounds mu Buddu.
Kabaka azze abuuza ku bantu be mu bitundu eby’enjawulo ku biyitirirwa ebyategekeddwa wabula obudde buzze kubunabwo bwatuuse mu kibuga Masaka wabula olw’abantu abangi ababadde bamulindiridde, Omutanda asiimye nava mu mmotoka ze natambula okulamusa ku bantu be.
Ku kisaawe Kabaka Mutebi atuuseewo ku ssaawa 9:00 ez’olweggulo era ayaniriziddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga, Minisita w’Emizannyo Henry Sekabembe Kiberu, ne Ppookino Jude Muleke awamu n’abakungu abalala.

Omuteregga alambuziddwa ebirabo ebimuweereddwa oluvannyuma by’asiimye ne gafuuka Amakula era oluvannyuma alambudde ennyiriri z’abazannyi ba tiimu zombi Buddu ne Mawogola.
Beene asiimye nawandiika ku mupiira nga akabonero akaggulawo empaka z’omwaka 2022 era nasiima nagusamba olwo omupiira negutandika.
Mu kusooka, Katikkiro yatongozza empaka zino era naakwasa abaami b’amasaza emijoozi n’emipiira egiwandiikiddwako amannya g’amasaza gaabwe wamu ne ssemateeka afuga empaka zino okusobola okukuuma omutindo gwazo.
Omupiira gubadde gwa bunkenke ku njuyi zombi nga buli ludda lufubye okunoonya ggoolo naye nga buteerere era omupiira guwedde 0:0.

Omuzannyo guno gulamuddwa Vincent Kavuma, ng’ayambiddwako abawuubi b’akatambaala, Zziwa Charles Edward, Mafumu Mustafa, Kiwanuka Vincent awamu ne Ssonko Mark nga kkomisona, ne Sam Mpiima.
Kati Buddu ne Mawogola buli omu alina akabonero kamu nga balinze kulaba ani anaawangula ku ttiimu endala bwebali mukibinja Masengere.
MASENGERE GROUP
Buddu
Mawogola
Ssingo
Kyaddondo
Buvuma
Buluuli
BULANGE GROUP
Buweekula
Butambala
Gomba
Kooki
Kabula
Mawokota
MUGANZIRWAZZA GROUP
Bulemeezi
Ssese
Bugerere
Busujju
Busiro
Kyaggwe









