Bya Ssemakula John
Kampala
Omwogezi w’ekibiina ki National Unity Platfrom (NUP), Joel Ssenyonyi, alabudde bannayuganda okwegendereza musajja mukulu Moses Kibalama n’ekibinja kye abatandise okutemamu ekibiina kino kuba ebigendererwa bye tebimanyiddwa.
Kino kiddiridde Kibalama ne banne okuggulawo woofiisi e Kabowa ku luguudo mu Lubaga South era nebavumirira Kyagulanyi ne banne olw’okwagala ennyo ensimbi awamu n’okusuulawo ekigendererwa ekikulu eky’okukyuusa obuyinza.
“Tulabye ebitambuzibwa ku mutimbagano ng’abantu abamu bwetandise okweyita abakulembeze ba NUP. Gyebuvuddeko abantu bano bategeeza kkooti nti gavumenti yeebakozesa, kiraga nti gavumenti ekyabakozesa okunafuya ekibiina ki NUP basobole okikulaakulanya,” Ekiwandiiko ekiriko omukono gwa Ssenyonyi bwekisomye.
Ssenyonyi alabudde nti olukwe lwa bano telugenda kutuukirira era tebigenda kubaggya ku mulamwa. Okusinziira ku Ssenyonyi bano bagenda kubakwatako n’omukono gw’amateeka mu bwangu ddala okusobola okukomya ebikolwa byabwe eby’obufere.
Bw’abadde ayogerako eri bannamawulire omuwandiisi w’ekibiina kino ku nsonga z’amawulire mu kiwayi kino, Tugume Gideon ategeezezza nti okusinziira ku Ttabamiruka w’ekibiina gwebatuuza nga 27th May 2022 basalawo bafune ekitebe ekipya ekitali Kamwokya okusobola okuteeka ekiragiro kya bannakibiina mu nkola ekyasalibwawo akakiiko ak’okuntikko.
Tugume ategeezezza nti enkola y’abakulu abasinziira e Kamwokya si beerufu nga balemwa n’okulaga bannakibiina ensaasaanya wamu n’okuteekamu abantu abalala ekitiibwa ate nga baalemwa nokussa ekitiibwa mu Ssemateeka w’ekibiina.
Bino webijjidde nga ekibiina ki NUP e Kamwokya kitegeka okuddamu okusimbawo ababaka n’ abakulembeze wabula ekiwayi kya Kibalama kigamba nti omuntu yenna anaasangibwa nga akozesa obubonero oba langi z’ekibiina nti bajja kumuvunaana.