• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Agafa e Mengo

Abantu ba Kabaka basabiddwa okulwanyisa obwavu

Gambuuze by Gambuuze
June 16, 2022
in Agafa e Mengo
0 0
0
Abantu ba Kabaka basabiddwa okulwanyisa obwavu
0
SHARES
49
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya  Doreen Nakagiri

Lubiri – Mmengo

Omulangira Felix Walugembe asabye abantu ba Kabaka abawangaalira mu mutuba XI  e Najjembe mu ssaza lye Kyaggwe okubeera abakozi basobole okwegobako obwavu era bafube okulwanyisa endwadde nga Mukenenya okusobola okwekulaakulanya.

Okusaba kuno Omulangira Walugembe akukoze atikkula Amakula abantu bano ku Lwokuna mu Lubiri e Mmengo mu kaweefube w’okuyimirizaawo embiri z’Omutanda nga zirimu eby’okulya.

“Mbakuutira era mbasaba okubeera abakozi kuba buli kimu kati bakiseera. Buli muntu wenna ky’okutteko kuba okulaba nti kivaamu ssente. Ewammwe musenza abantu bangi naye buli gwemusenza mumusabe abeeko kyakola okutwala Buganda mu maaso. Bannange tukole nnyo ate tusomese abaana,”  Omulangira Walugembe bw’annyonnyodde.

Omulangira Walugembe bano abasiimye olw’okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe  eri Ssaabasajja Kabaka nga baleeta Amakula.

Abasabye okubeera abasaale mu bitundu gyebabeera okulwanyisa akawuka ka Mukenenya nga babunyisa amawulire eri abantu ku kabi akali mukwegalabanja nabakyala oba nabasajja abangi awamu n’obulabe obuli mu kawuka ka Mukenenya.

Ye Katikkiro w’ebyalo bya Kabaka, Omukungu Moses Luutu yeebazizza bannakyaggwe olw’okutuukiriza enkola yokukiika embuga n’Amakula kyokka nabasaba okunyikira okulima emmere emala mu maka gabwe balwanyisa endwadde eziva ku ndya embi.

Omwami wa Kabaka atwala egombolola ya Mutuba II Najjembe, Ssaalongo Edward Musoke nga yakulembeddemu banakyaggwe bano alaze okutya ku bantu abeesomye okusanyaawo obutonde bwensi era ekyokulabirako naawa e kya Mabira ekiweddewo nga kati kisigadde ku kkubo wokka.

Ate Amyuka Ssekiboobo ow’okubiri Omulangira Rashid Kanaakulya asabye abantu ba Buganda okwagala ennyo Kabaka wabwe era bakyawe omuntu yenna agezaako okwang’anga Obwakabaka.

Bano baleese Amakula omubadde ebisolo, emmere awamu n’ebibala eby’enjawulo.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist