Bya Mark Jackson Kasule
Lusiiti – Kyaddondo
Ekitongole kya Kabaka ekivunaanyizibwa ku ttaka ki Buganda Land Board kiwandikidde abakulu mu ggye ly’eggwanga erya UPDF okukoma ku basajja baalyo abeefunyiridde okwesenza n’okunyaga ettaka ly’ Obwakabaka.
kino kiddiridde munnamagye Brig Gen Bob Ojik okuzingako ettaka lya Buganda erisangibwa e Kirinda Lusiiti mu ggombolola ya Makindye Ssaabagabo okuli Olubiri lwa Kabaka Mukasa natwala ekitundu ku ddyo era nakisibako buggwe nga agamba nti lirye bwoya.
Omwogezi w’ekitongole ki Buganda Land Board, Denis Bugaya ategeezezza nti ono bamuwandikidde awamu ne bakama bwe mu ggye ly’eggwanga naye ensonga bwezinaba tezigonjoddwa bakweyongerayo mu mbuga z’amateeka.
Denis Bugaya agamba nti emirerembe giyitiridde naddala mu bannamaggye abaagala okukozesa ebifo byabwe n’emmundu okutwala ettaka lya Beene naye kino tebagenda kukkikiriza.
“Twafunye amawulire nti ekifo ky’embuga e Lusiita kyazingiddwako Bannamagye era nebakisibako buggwe, ekigendererwa tukimanyi nti kyagugezaako kunyaga kifo kino. Gyebuvuddeko enkola ey’okubba ebifo by’Obwakabaka egenda mu maaso nga bwetulaba e Mijwala e Ssembabule n’ekifo ku ttaka ly’Obwakabaka, neku Masiro e Masanafu,” Munnamateeka Bugaya bw’agambye.
Ono annyonnyodde nti bawandikidde olukiiko olw’okuntiko olutwala bannamagye okubategeeza ku basajja babwe era bwekinagaana bakugenda mu mateeka nga bwebakola e Ssembabule era nalabula nti tebagenda kuseeseetuka ku nsonga ezeekuusa ku ttaka lya Kabaka.
Bugaya akikaatirizza nti teri gwebagenda kukirizza kutwala ttaka naddala eririko ebifo eby’ennono n’obuwangwa bwa Buganda kubanga kibakakatako okubikuuma ng’ekitongole ky’Obwakabaka abalijja nabo basobole okubisanga.
Ono asabye enkola egoberera amateeka etukizibwe okusobola okumalawo obuvuyo ku ttaka kuba eno abanene mu magye ne poliisi bagiyisaamu amaaso.
Ye Brig Gen Bob Ojik bwabuuziddwa ku nsonga eno nga tuyita ku ssimu, ategeezezza nti ensonga zino ziri ku poliisi era ye tasobola kuzoogerako.
Abakuuma ekifo kino nga bakulembeddwamu Ssaalongo Katwere bategeezzeza nti bali mukutya olwa bbuggwe atandise okuzimbibwa ku ttaka okuli olubiri lwa Kabaka Mukasa nate ate ng’abazimba bakuumibwa mmundu.
Ekifo kino kiwanuuzibwa Kabaka Mukasa weyakuba olubiri era weyatuukira ne mukyala we Najjemba okusobola okutuusa obujjanjabi ku bantu abagendanga e Sese naye nebalemesebwa olw’entambula .
Kigambibwa nti wano era wewasibuka ennono ya Bwezabwamukasa ekozesebwa ennyo mukwalula abalongo era kirowoozebwa nti wano Ssekabaka Nakibinge Mulwanyammuli weyava era weyatuukira ngava okutaasa Buganda ku Bunyoro.
Mu kifo kino era waliwo omusambwa gwa Najjemba era nga kivunanyizibwa ku bazzukulu ba Kisolo Ssebyoto abazira Ngonge okukikuuma n’abalangira abava mu lulyo lwa Kabaka Mukasa agambibwa okuba nti yabulabubuzi nga taliiko masiro.