
Bya Ssemakula John
Njeru – Kyaggwe
Ttiimu ya Uganda ey’omupiira gw’ebigere ey’abakyala esitukidde mu kikopo kya CECAFA eky’omwaka 2022 bwekubye Burundi ku fayinolo ezannyiddwa ku Lwomukaaga ku kisaawe kya FUFA Technical Centre, Njeru.
Crested Cranes omuzannyo eguwangulidde ku ggoolo 3-1 netwala ekikopo kyaayo ekisookedde ddala mu byafaayo mu mpaka zino.
Ggoolo ezibawanguza ziteebeddwa Sandra Nabweteme eyateebye mu ddakiika 2 ez’ekitundu ekisooka ne Fazila Ikwaput nagattako mu ddakiika ya 43.
Wano Burundi yataamye netandika okukola ennumba mukitundu eky’okubiri era Joelle Bukuru nagiteebera ggoolo olwo negubeera 2-1.
Nabweteme yabongodde ggoolo endala olwo negubeera 3-1 era bwetyo Uganda Crested Cranes nesobola okuwangula ekikopo kino.
Ate Ethiopia yakubye ttiimu ya Tanzania 2-1 nekwata ekifo eky’okubiri era netwala omudaali gw’ekikomo mu mupiira ogwasooseewo.
Abawangudde Engule ez’enjawulo
Omuzannyi asinze banne (MVP) Fazila Ikwpaut (Uganda)
Asinze okuteeba ggoolo (Top Scorer) Opa Clement (Tanzania) ne ggoolo 7.
Omukwasi wa ggoolo asinze – Daisy Nakaziro (Uganda)









