
Bya Ssemakula John
Luweero – Bulemeezi
Bazzukulu b’ Omutaka Muteesaasira bakubye aba Mutasingwa ggoolo 4-2 mu mupiira oguguddewo empaka z’Ebika bya Buganda ez’omwaka 2022.
Omupiira guno guyindidde mu kisaawe kya Kasana e Luweero mu Bulemeezi nga bino byonna bibadde mu maaso ga Ssaabasajja Kabaka eyasiimye naggulawo empaka zino.
Ab’Engo bebasoose okulengera akatimba mukitundu ky’omuzannyo ekisoose nga bayita mu muzannyi Ssenabulya Frank wabula wayise mbale Batenda Ivan ow’ekika ky’Embwa nateeba ey’enkyenkanyi, Ssekiranda Derrick nateebera ab’ Engo ggoolo ey’okubiri.
Omuzannyi w’ekika ky’Embwa Batenda Ivan naye azzeemu okuteebera ab’Embwa era ekitundu ekisoose kiwedde guli 2-2.

Ekitundu eky’okubiri kitandikidde mu bbugumu era muzzukulu wa Muteesaasira Ssenabulya Frank azzeemu okuteeba ggoolo negubeera 3-2.
Mu ddakiika ntono Micheal Lubowa ateebye ggoolo y’Engo ey’okuna (4) era Engo nesitukira mu bubonero 3 ne ggoolo 4 netangaaza emikisa gyaayo okweyongerayo ku mutendera oguddako.










