• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Museveni: Nze nayingiza Pinetti mu by’Emmwaanyi yali talina kyamanyi

Gambuuze by Gambuuze
June 8, 2022
in Amawulire
0 0
0
Museveni: Nze nayingiza Pinetti mu by’Emmwaanyi yali talina kyamanyi
0
SHARES
45
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Kampala

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni agambye nti yeyayingiza musigansimbi Enrica Pinetti mu by’okugatta omutindo ku mmwaanyi nga ayagala bannansi bongere okufunamu kuba yakizuula nti bafiirwa.

Kino kiddiridde  bannayuganda okutabuka ku ndagaano y’emmwaanyi eno nga bagamba nti waliwo olukwe lw’okutwala emmwaanyi zabwe nokubagoba mu mulimu guno nga byonna bikolebwa beekwese mu ndagaano Uganda gyeyakola ne kampuni ya Uganda Vinci Coffee Company Limited egenda okuzimba ekkolero ly’ emmwaanyi e Namanve.

Gyebyagwera nga Palamenti ekkanyiza ne bannayuganda nti endagaano eno teriimu nsa era nelagira esazibwemu kyokka Pulezidenti Museveni bweyabadde ayogerako eri eggwanga ku Lwokubiri yategeezezza nti omuzungu bannayuganda bavunaana wa bwereere kuba eby’emmwaanyi teyabiriiko kuba obukugu abulina mu kuzimba malwaliro.

“Bwenasisinkana Pinetti, teyalina kirowoozo kyonna ku mmwaanyi. Naye namanya nti alina abantu bangi bamanyi okwetoloola ensi nemusaba anyambeko. Oluvannyuma yakomawo gyendi era nandaga nti kisoboka okukolebwa, ye amanyi byakuzimba malwaliro,” Museveni bwe yagambye.

Wano Pulezidenti Museveni weyasinzidde nalabula bannayuganda okukomya okulumba Musigansimbi Pinetti kuba ajja kuyamba Uganda okufuna mu kirime ky’emmwaanyi kuba ensi ezikyakula zifuna kitono mu mmwaanyi ate nga bebazirima.

Okusinziira ku Museveni, emmwaanyi y’ekika kya Robusta ezimanyiddwa nga Screen 18 zijja kuyamba nnyo nga zino singa zitundibwa nga Kase kiro emu basobola okugifunamu ddoola z’ Amerika 3.34 ku katale k’ensi yonna songa luli babadde babadondola.

“ Mulabye ekibalo, naye kisobola kutuukiririra kitya? Sisobola kutunula butunuzi nga tufiirwa mu mmwaanyi ate nga nze Pulezidenti, njakusisinkana buli muntu ayagala  okugatta omutindo ku mmwaanyi mu ggwanga,” Museveni bwe yagasseeko.

Kinajjukirwa nti endagaano ezalabwako zalaga nga Pinetti bweyateeka omukono ku ndagaano nga omujulizi wadde gavumenti yali endagaano egikoze naye nga Musigansimbi ekyaleetawo ebibuuzo.

Endagaano zino ezasomolwa mu February ,2022 zalaga nti Minisita w’ebyenfuna Matia Kasaija awamu n’omuteesiteesi omukulu owa minisitule eno, Ramathan Ggoobi be bateekako omukono kulwa gavumenti ya Uganda era ziraga nti kampuni ya Uganda Vinci Coffee Company, yawandiisibwa mu mateeka era esangibwa ku Poloti 2, Summit View , e Kololo mu  Kampala.

Mu ndagaano eno gavumenti ewa kampuni ya Vinci olukusa ku mmwaanyi okuzitunda wabweru w’eggwanga era n’ettaka kwebalina okuzimba ekkolero awamu nokusonyibwa omusolo wabula nokutuuka kati ekkolero lino libadde teritandikanga wadde okukolerako ekintu kyonna.

Share this:

Tags: Enrica PinettiMatia KasaijaPresident MuseveniRamathan Ggoobi
  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.