• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Muwanga Kivumbi : Bamafiya bagezaako okuzza endagaano y’emmwaanyi nga bakyuusa Palamenti byeyasalawo

Gambuuze by Gambuuze
June 2, 2022
in Amawulire
0 0
1
Muwanga Kivumbi : Bamafiya bagezaako okuzza endagaano y’emmwaanyi nga bakyuusa Palamenti byeyasalawo
0
SHARES
84
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Kampala

Minisita w’ebyensimbi ku ludda oluvuganya, Muwanga Kivumbi ategeezezza nti agudde mu lukwe lwa bamafiya olw’okugezaako okukyuusa ebyasalibwawo akakiiko ka Palamenti ku ndagaano y’emmwaanyi gavumenti gye yakola ne kampuni ya Vinci nga egiwa obuvunaanyizibwa ku mmwaanyi mu ggwanga.

Nga beesigama ku byasalibwawo akakiiko k’ebyobusuubuzi mu Palamenti akakulirwa omubaka Mwine Mpaka, Palamenti eyawamu yagoba endagaano eno gavumenti yawakati gyeyakola ne kampuni ya  Uganda Vinci Coffee Company Limited (UVCC)  ku ntandika y’omwaka guno.

Palamenti yategeeza nti endagaano eno yali mbi eri bannansi  naddala abali mu mulimu gw’okulima n’okutunda emmwaanyi.

Bano bakolokota ne Ssaabawolereza wa gavumenti,  Kiryowa Kiwanuka  olw’okukkiriza gavumenti okuteeka omukono ku ndagaano eno era bwatyo naye nakkiriza okukola enongoosereza mu ndagaano eno n’oluvannyuma bagikomyewo mu Palamenti.

Ku Lwokuna, omubaka Muwanga Kivumbi ategeezezza bannamawulire nga bwagudde mu lukwe lw’ abamafiya batayatukiriza mannya okukyuusa ebyasalibwawo Palamenti bateekemu ebyabwe.

“Twesanze nga ebibeera bisaliddwawo Palamenti bikyuusibwa nga tebinasindikibwa mu Minisitule y’ebyensimbi. Kati baagala kukyuusa byasalibwawo Palamenti ku ndagaano y’emmwaanyi,” Kivumbi bwe yagambye.

Kivumbi agamba nti bano bakikolako bwebakyuusa ekiragiro kya Palamenti mweyasabira gavumenti egule emigabo gya buwumbi 108 mu kampuni ya Atiak Sugar kyokka bakyuusa nebalaga nti ssente zino zaali zakugula byuma ebigenda okukozesebwa ekkolero lya kampuni.

Ono ategeezezza nti pulaani eno ebaddewo nga bamafiya bakyuusa ebisaliddwawo Palamenti nalaga nti akaseera katuuse basanguzibwe.

Kati Kivumbi awandiikidde Kalaani wa Palamenti nga amusaba amuwe ebiragiro Palamenti byeyawa nga May 18, ku ndagaano eno ku ndagaano y’emmwaanyi eno byebavaako okugisazaamu.

Ono agamba nti ebyasalibwawo Palamenti ku ndagaano ya Vinci birina okusibwako eriiso ejjogi kuba eggwanga lyonna lyali libataddeko amaaso era lyasanyuka ng’endagaano eno esaziddwamu kuba yali emenya amateeka era nga terina kalungi kegenda kuwa bannansi.

“Mpandikidde Kalaani nga musaba ampe ebiragiro ebyasalibwawo byategese okuwa gavumenti. Eyali alumiddwa ku musota, twali tulabyeko ebisaliddwawo nga bikyuusibwa ate kati tuwulira nti era batandise, twagala Kalaani wa Palamenti akigoberere nga atunuulira Hansard okumanya ekituufu, kino kirina okukoma,” Muwanga Kivumbi bw’agambye.

Wabula ono bwabuziddwa abali emabega w’olukwe luno, Muwanga agaanye okuboogera nategeeza nti obukulembeze mu Palamenti bwebulina okunenyezebwa ku nsonga eno.

Share this:

Tags: Kiryowa KiwanukaMuwanga KivumbiMwine MpakaUganda Vinci Coffee Company Limited (UVCC)Vinci
  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.