Bya Ssemakula John
Kampala – Kyaddondo
Minisita w’ebyensimbi Matia Kasaija yetondedde eggwanga ku nsimbi obuwumbi 10 n’obukadde 600 ezaweebwa akakiiko k’ebyettaka okuliyirira abantu ab’enjawulo zagamba nti zasindikibwayo mu bukyamu.
Bino Kasaija abyogeredde mu kakiiko ka Palamenti akalondoola ensaasaanya y’ensimbi mu bitongole bya gavumenti aka Parliamentary Committee of Commissions, Statutory Authorities, and State Enterprises (COSASE) kabadde ajja nga yeebalama.
Ssentebe w’Akakiiko kano Joel Ssenyonyi atadde Kasaija ku nninga annyonnyole lwaki ssente zenyongereza zeyateekako omukono zasabibwa Minisita w’ebyettaka eyaliwo Beti Kamya mukifo ky’ Akakiiko akali kagenda okukozesa ssente zino ng’etteeka bwerigamba.
Kimanyiddwa nti akawaayiro nnamba 25 ak’etteeka li ‘Public Finance Management Act’ ligamba nti omuntu abeera yeetaaga ssente zenyogereza yalina okuzisabayo nga mu mbeera eno ke kakiiko k’ebyettaka.
Kasaija ebyokuddamu bisoose kumubula nasiriikirira wabula oluvannyuma ategeezezza nti ssente zino zaweebwayo mu nsobi.
“Ndowooza ssente zino zasindikibwayo mu nsobi sisobola kukyegaana, kino kyali tekituyitako nga Minisitule, twali tugamba ab’ akakiiko k’ebyettaka nebeesabira ennyogereza eno,” Kasaija bw’ategeezezza.
Okusinziira ku Ssenyonyi bwebatunuulidde alipoota ya Ssaababalirizi w’ebitabo bya gavumenti bakizudde nti ssente zino bwezafuluma omuwandiisi w’akakiiko navunaanyizibwa ku nsimbi be baziggyayo nga tezimaze kukakasibwa eyali Ssentebe w’akakiiko kano mu budde obwo Beatrice Nyakayisiki .
Eno nayo Ssenyonyi agamba yali nsobi kuba etteeka si kyerigamba.
Mu kwogera Kasaija annyonnyodde nti si yekka yalina okunenyezebwa ku kino, yawubisibwa abakugu mu Minisitule eno nga mwemuli neyali omuwandiisi ow’enkalakalirira, Keith Muhakanizi.
Omubaka omukyala owa Mityana, Joyce Bagala abuuzizza Minisita Kasaija lwaki talina kyeyakolawo nga ategedde nti eno ebadde nsobi okuziweereza, mukwanukula ono annyonnyodde nti talina buyinza kugoba Minisita.
Kinajjukirwa nti akakiiko ka COSASE mu kiseera kino kali mu kunoonyereza ku nsimbi obuwumbi 10.6, Ssaababalirizi zeyasongako mu alipoota ye eya June 30, 2021.
Mu alipoota eno, Ssaabalirizi wa gavumenti agamba nti ssente zenyogereza ezasindikibwa mu Uganda Land Commission (ULC) ku biragiro by’ eyali Minisita Beti Kamya yali nsobi.
Okusinziira ku alipoota eno, abantu 6 abalina okuliyirirwa ssente zino baali bampewo tebabangayo.
Kati COSASE eyise Keith Muhakanizi n’abakugu Kasaija bayogerako okweyanjula eri akakiiko kano.