• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Katikkiro Mayiga asabye RCC akole ku banene abaagala okwezza ettaka lya Buganda mu Kampala

Gambuuze by Gambuuze
May 31, 2022
in Amawulire
0 0
0
Katikkiro Mayiga asabye RCC akole ku banene abaagala okwezza ettaka lya Buganda mu Kampala
0
SHARES
59
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Francis Ndugwa

Bulange –  Mmengo

Katikkiro Charles Peter Mayiga asabye omubaka wa Pulezidenti mu Kampala, Nanziri Amina Lukanga, okukoma ku bantu abeerimbika mu bakozi ba gavumenti awamu n’abasirikale nga baagala okunyaga ettaka lya Buganda mu Kampala.

Okwogera bino abadde asisinkanye omubaka wa Pulezidenti mu Kampala, Nanziri Amina Lukanga awamu n’ababaka ba Pulezidenti mu divizoni za Kampala mu Bulange e Mmengo ku Lwokubiri.

“Ekimu ku bizibu bya Buganda mu Kampala ly’ettaka. Olw’okuba ebintu bya Buganda byaffe fenna  buli omu alowooza nti alina eddembe okwegabanya wonna webaagala.Bwetukolagana obulungi tusobola okuziyiza ababbi bano kuba bo tebaagala kutambulira mu makubo agamateeka, ensonga zino bwonozitegeera netutabulira wamu tujja zigonjoola mangu,”  Owek. Mayiga bw’agambye.

Owek. Katikkiro Mayiga ategeezezza nti emivuyo gino giwa gavumenti ekifananyi ekibi nga bekweka mu basirikale n’abakozi ba gavumenti.

Kamalabyonna ono amusabye abakolera mu bifo bya Buganda okuli  amasomero, amalwaliro n’obutale okutereeza obusenze bwabwe, bajje embuga bafune liizi kiyambe okulongoosa enkolagana wakati wa Buganda ne gavumenti.

atikkiro Charles Peter Mayiga ategeezezza nti omulimu gwa bano omukulu kwekuyunga bannakampala ne gavumenti okusobola okukuuma obutebenkevu awamu n’okulaakulana.

Okusinziira ku Katikkiro, obukulembeze bwetaaga okuwuliziganya ku mitendera egy’enjawulo bakulaakulanye bannansi.

Mukuumaddamula asabye abakulembeze bano okukkiriza okuwuliriza awamu n’okuyiga ku nsonga zebatamanyi kuba okuyiga tekukoma, abasabye beeyunge ku bakulembeze b’abavubuka mu Buganda basobole okumanyigana wamu n’okuwabulagana.

Abeebazizza okugula emijoozi gya Kabaka egiweza emitwalo 50 okwetaba mu misinde gya Kabaka era namusaba yenyigire mu lutalo lw’okulwanyisa Mukenenya nga amugatta kwebyo byalina okukola .

Omubaka wa Pulezidenti mu Kampala,  Nanziri Amina Lukanga, ategeezezza nti babadde balina okuvaayo okuwulira ekiragiro kya ­Kabaka okutumbula eby’obulamu mu bantu be awamu ne Uganda yonna.

Kulwa banne RCC Nanziri yeeyamye okukolagane ne Buganda era nasaba bawabulwe era babalung’amye singa wabaawo ensonga.

Minisita avunaanyizibwa ku buwangwa n’ennono awamu n’ebyokwerinda, Owek. David Kyewalabye Male ategeezezza RCC nga bwewaliwo abasirikale abasomye okusanyaawo ebifo bya Buganda mu  Kampala era nasaba omubaka wa Pulezidenti okulondoola ensonga eno.

Ensisinkano eno yeetabiddwamu Minisita Noah Kiyimba,  Ssaabawolereza Christopher Bwanika, omubaka wa Pulezidenti e Lubaga Anderson Burora,  Doreen Kaita owa Makindye, Dr. Kassim Kamugisha owa divizoni ye Nakawa, Yasin Ndidde wa Kampala Central ne Jjuuko Sulaiman.

Emisinde gy’omulundi guno gigenda kutambulira wansi w’omulamwa,”Abaami tube basaale tulwanyise Mukenenya tutaase abaana ab’obuwala.’

Share this:

Tags: Jjuuko SulaimanKatikkiro Charles Peter MayigaMinisita Noah KiyimbaRCC Anderson BuroraRCC Doreen KaitaRCC Dr. Kassim KamugishaRCC Nanziri Amina LukangaSsaabawolereza Christopher BwanikaYasin Ndidde
  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.