Bya Ssemakula John
Kampala
Kkooti ya Law Development Centre (LDC) esindise bannakibiina ki Forum for Democratic Change (FDC) okuli omubaka omukyala owa Soroti Adeke Anna Ebaju n’omumyuka wa Loodimmeeya, Doreen Nyanjura ku alimanda.
Bano basibiddwa wamu ne Nanyonjo Susan, Amony Alice, Wokuri Madanda ne Mariam Kizito oluvannyuma lw’okukwatibwa ku nkulungo e Mulago nga beekalakaasa ku miwendo gy’ebintu egyekanamye awamu n’okuwakanya obukadde 30 ezasabiddwa Dr. Kizza Besigye okweyimirirwa.
Okusooka bano baggaliddwa ku poliisi y’e Wandegeya gyebabadde bakuumirwa oluvannyuma nebasimbibwa mu maaso g’Omulamuzi Augustine Alule gyebavunaanibwa omusango gw’okukuba olukung’aana olumenya amateeka.
Bano bonna emisango bagyegaanye nga bayita mu bannamateeka babwe abakulembeddwamu Erias Lukwago, Ivan Bwowe ne Samuel Muyizzi era nebasaba okweyimirirwa.
Balooya bano bategeezezza kkooti nga abavunaanwa bwebalina ebifo ebyamaanyi mu ggwanga ate nga tebasingisibwangako musango gwonna oba okweyimirirwa ku kakalu ka kkooti nebamenya amateeka gaako.
Omulamuzi bano agaanye okubeeyimirirwa nabasindika e Luzira okutuuka lwebanaddamu okuwulira okusaba kwabwe okw’ okweyimirirwa nga 7, July, 2022.