
Bya Musasi Waffe
Kampala
Akulira ekisinde ki National Economic Empowerment Dialogue (NEED), Joseph Kizza Kabuleta agamba nti bannayuganda mu bitundu eby’enjawulo banonaabona wadde waliwo abatono abeeyagala mu kitundu kya Ankole.
Kabuleta nga yavuganyako ku bwapulezidenti mu kalulu ka 2021, bino yabyogeredde mu lukung’aana lwa bannamawulire ku kitebe kya NEED mu Kampala ku Mmande.
“Si nti abanyakole bonna bafunye mu gavumenti eno, abasinga bali mu buzibu ng’ abalala era batubidde mu bwavu naye waliyo abatono abeeyagala era bano bebagezaako okusiiga ekifananyi nti abantu b’ekitundu kino bali bulungi,” Kabuleeta bwe yagambye.
Okusinziira ku Kabuleta okuva NRM lweyatandikibwawo ebadde etiitiibya nnyo Abahima n’Abatuusi nga bebaluka enteekateeka y’okulembera Uganda okumala emyaka 50, wadde okusooka bannayuganda babiraba nga lusaago naye bagenze okulaba ng’emyaka 50 gibulako katono okukongoka.
Kabuleta agamba nti bano bakozeseza bbanka okwezza ebintu bya bantu nga babawola amabanja ku magoba amangi bwebalemererwa nebatwala ebizimbe n’ettaka lyabwe era bakola nnyo okulaba nti abantu babakuumira mu bwavu basobole okubafuga.
“Ebya Uganda bigenda biggwawo mpola. Kyetulina kati be Bahima abeefuze buli kantu,” Kabuleta bwe yannyonnyodde n’asaba bannayuganda okusitukiramu beerwaneko nga ekiseera tekinayita kufuuka baddu mu nsi yabwe.
Eyaliko omubaka wa Isingiro North mu Palamenti Prossy Ayebare yategeezezza nti Abanyankore n’Abakiga tebalina kyebafunye mu gavumenti eno kuba Abahima n’Abatuusi bebasalawo ku ani atuula mu kifo era ne ani asalawo ku nsonga ez’amakulu mu ggwanga.
Ayebare yasabye bannayuganda bakomye okubatwalira awamu kuba si nti buli Munyankole alina kyafunye mu gavumenti eno kuba nabo amasomero, amalwaliro byonna biri mu mbeera mbi era nabo beesanze babbiddwako ettaka abanene abali mu gavumenti.
Omu ku bantu abavuddeyo okukakasa kino ye Edwin Akoragye, omutuuze we Biharwe mu Mbarara city eyagambye nti Abahima n’Abatuusi be basalawo mwana wa ani alina okufuna sikaala za gavumenti okusomera ebweru n’okubeera mu bifo era bafudde bannansi abasibe mu nsi yabwe.
“ Balina enteekateeka y’okuyonja Kampala naye nga baagala kumwefuga. Baagala baleete amatooke nga bamaze okugawaata okuva e Rubindi, baagala ente batandike kuzittira mu lufula gyebazimbye e Birabwe. Baagala okwefuga buli kantu okuva ku mmwaanyi, amata, amatooke awamu n’ebirala,” Akoragye bwe yannyonnyodde.
Ono yategeezezza nti ettaka mu Ankole libbibwa, e Rwenjeru omuntu omu yaweebwa sikweya Mayiro 500 ku bwerere alundireko ente. Ono alina akakwate ku banene mu gavumenti era abaavu abaliwo bagobwawo era tebalina wakubeera.
Akoragye agamba nti Abanyankole si basosoze, era ssi babi nga bannayuganda bwebalowooza olw’ebikolwa by’abantu abamu abali mu gavumenti.
Akwanaganya ekisinde ki NEED mu ggwanga, Asuman Odaka, agamba nti baagala okulaba ng’eggwanga ligabana kyenkanyi eby’obugagga kiriyambe okulaakulanira awamu
Odaka yategeezezza bannamawulire nti abantu b’e Bukedi balowooza nti Abanyankole bali bulungi ekintu ekitali kituufu.









