Bya Ssemakula John
Kampala
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga ategeezezza nti bakwataganye n’ebitongole bye byokwerinda ebirala okukuuma abantu n’ebyabwe mu nnaku eziddirira olwa 3, June, 2022 awamu neku Lwokutaano nga eggwanga lijukira okuttibwa kw’Abajulizi.
Olunaku lw’Abajulizi olw’omwaka guno lusuubirwa okubaamu abantu abawerera ddala oluvannyuma lw’eggwanga okuva ku muggalo gw’emyaka 2 nga bagenda kukung’aanira mu bifo 4, okuli ekiggwa ky’ Abakatoliki e Namugongo, e Nakiyanja mu bakulisitaayo awamu ne Mamra Prayer Centre ewa Fr. Kibuuka ate neku kiggwa ky’ abasiraamu e Namugongo.
Bw’abadde ayogerako ne bannamawulire, Enanga ategeezezza nti tebalina kwekengera wadde okulabula kwebafunye ku bantu abayinza okwagala okulumbagana abalamazi wadde embeera eriwo mu ggwanga tenabeera ntebenkevu nnyo.
“Basajja baffe bali mu bifo byonna ebina era buli lukya bongera okwetegekera embeera yonna eyinza okubalukawo okutaataaganya ebikujjuko bino,” Enanga bwe yagambye.
Enanga yannyonnyodde nti bamaze dda okuzingako ebifo byonna ebiyinza okweyambisibwa abaagala okutabula ebikujjuko bino nasaba abantu okubatuukirira nga balina omuntu yenna gwebekengedde kuba balina abawanvu n’abampi, kadenge, Pikipiki awamu ne kkamera eziwera okunyweza eby’okwerinda mu kitundu kino.
Ono yagasseeko nti obwengula bwa Namugongo bugenda kulondoolwa eggye ly’omubanga nga likolagana ne poliisi bwatyo nasaba abagenda okwetaba mu kulamaga ku mulundi guno okubeera obulindaala n’okwekengera ekintu kyonna kyebaba batategeera.
Enanga abalamazi abasabye okutambula n’ebibogerako beewale okutaataaganyizibwa. Abasabye okwekeneenya embeera y’obulamu bwabwe nabawa amagezi baleme kwebonereza kisusse nga bagaana okulya, okunywa n’okuyimirira ekiseera ekiwanvu wamu n’okubeera mu mugotteko gw’abantu kuba byabulabe eri obulamu bwabwe.