Bya Ssemakula John
Kampala
Katikkiro Charles Peter Mayiga asabye bannabitone okukola emirimu gyabwe n’obukugu ate n’obuvumu, nga beewa ekitiibwa, kibayambe okwekulaakulanya awamu n’okuzza Buganda ku ntikko.
Owek. Mayiga yabyogeredde mu kivvulu ky’omuyimbi Hajara Diana Namukwaya abangi gwebakazaako Spice Diana bwabadde atongoza kyayise Stargal EP mu nteekateeka abantu ab’enjawulo gyebabadde bawuliriza ennyimba ze ku Cubana Bar and Longue e Munyonyo.
Ono era akubiriza bannabitone okuba nebiruubirirwa ebinene okusinga ku nnyumba, emmotoka nebirala ebifaanana bityo nabategeeza nti balina okutunula okusingako wano okusobola okuzimba eggwanga.
Mayiga agamba nti omuntu okuba n’ekitone ng’okuyimba, okuzina amazina nagyo mirimu ng’abantu ababeera mu wofiisi nabasiba amataayi nga nabwekityo bisaanye okuweebwa ekitiibwa.
Omuyimbi Namukwaya Hajara Diana Spice Diana yeebazizza Katikkiro olwokujja naberawo mu kivvulu kye .
Owomumbuga abadde awerekeddwako Minisita owabavubuka nokwewumuza Owek. Henry Kiberu Ssekabembe n’abakungu abalala era asanyusiddwa abayimbi ab’enjawulo okuli; Irene Namatovu, Maulana ne Reign awamu n’abalala.