Bya Ssemakula John
Omoro
Eyeesimbyeewo ku tikeeti y’ ekibiina kya National Resistance Movement (NRM) era mutabani w’omugenzi Jacob Oulanyah, Andrew Ojok Oulanyah awangulidde waggulu ekifo ky’ omubaka wa Omoro mu Palamenti ekyalimu eyali Sipiika Jacob Oulanyah eyafa gyebuvuddeko.
Ojok yafunye obululu 14224 nateekawo omuwatwa ogwamaanyi ne munne gwebabadde naye ku mbiranye Simon Toolit Aketcha ow’ekibiina ki National Unity Platform (NUP) eyafunye obululu 1633 nakwata ekifo eky’okubiri.
Ojok Oulanyah yalangiriddwa akulira eby’okulonda mu kitundu kino Kagona Moses ku ssaawa nnya ez’ekiro bwatyo nadda mu bigere bya kitaawe nga kati alinze kulayira.
Oluvannyuma lw’okuwangula akalulu, Oulanyah yategeezezza nti musanyufu era wakukola nnyo okusigala nga agatta abantu b’ekitundu kino nga kitaawe bw’abadde akola.
“Buno obuwanguzi bwamanyi, njagala okwebaza abo bonna benvuganyizza nabo. Njagala okwebaza ekibiina kyange awamu n’abakulembeze b’ekitundu kino. Akalulu kano kalina okutugatta nga abantu b’Omoro,” Ojok bwe yagambye.
Bwe yabadde ayogera ku kalulu kano, Ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda, Simon Byabakama yagambye nti kano ke kalulu akakyasinze okuba ak’emirembe neyebaza abo bonna abaketabyemu.