• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Agafa e Mengo

Obwakabaka butongoza Wiiki y’ Obutondebwensi, busabye gavumenti eyongeremu amaanyi

Gambuuze by Gambuuze
May 25, 2022
in Agafa e Mengo, Amawulire
0 0
0
Obwakabaka butongoza Wiiki y’ Obutondebwensi, busabye gavumenti eyongeremu amaanyi
0
SHARES
67
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Bulange – Mmengo

Obwakabaka bwa Buganda butongoza Sabiiti y’ okulwanirira Obutondebwensi era nebusaba gavumenti okuteeka amaanyi mu butaasa kuba bwongera okusaanyizibwawo buli lukya.

Bw’abadde atongoza wiiki eno mu Bulange e Mmengo ku Lwokusatu, Omukubiriza w’ Olukiiko lwa Buganda, Owek. Patrick Luwaga Mugumbule ategeezezza nti Uganda eri mu katyabaga kuba entobazi nga Lwera zisaanyiziddwawo awatali muntu yenna kuzirwanirira.

Ono awadde eky’okulabirako ky’ abantu abasima  omusenyi n’okulimamu omuceere ekivuddeko amazzi okuwaguza negabuna ebitundu ebirilaanyewo.

“Abalima omuceere mu Lweera abalima  baziba emikutu gyonna egikulukusa amazzi nebalekawo gumu kyokka guno bagufuuyiramu eddagala erigenda ppaka mu nnyanja yaffe era tugenda kwesanga ng’ebyennyanja bitandise okufa naffe tubirye nga birimu obutwa,” Owek. Mugumbule bw’annyonnyodde.

Omukugu wa Minisitule  y’ Amazzi n’Obutonde mu gavumenti eyawakati, Bob Kazungu ategeezezza nti  okusinga okutyoboola obutonde naddala entobazi kusinga mu bugwanjuba n’ebitundu 40 ku buli 100 ate Buganda eri mu kyakubiri n’ebitundu 26 ku buli 100.

Ono annyonnyodde nti mu mwaka 1994, Uganda yali ku bitundu 15.6 ku buli 100 okukuuma Obutondebwensi naye omwaka 2019 wegutuukidde nga ebitundu bino bikkiridde ku bitundu 13 ku buli 100.

Omukugu Kazungu agamba nti entobazi ezitanaba ku tagulwa mu Buganda ziri ku bitundu 8.9 ku buli 100 naye omugga okuli Ssezibwa, Wamala, entobazi nga Kinawataka, Kansanga, Lubigi, Lumansi ne Nakivubo byonna kumpi bisaanyiziddwawo nga singa embeera tekwatibwa bulungi mu 2040 Uganda ejja kuba ddungu.

Minisita  avunaanyizibwa ku ttaka n’Obutonde mu Buganda, Owek. Mariam Mayanja Nkalubo agamba nti obwakabaka butunuulidde kulaba ng’abavubuka baba basaale okulwanirira obutondebwensi mu ngeri zonna kitaase ebiseera bya Buganda.

Ye Omukubiriza wolukiiko lw’ Abataka,  Nnamwama Augustine Kizito Mutumba awadde amagezi okusoozowaza emisomo egikwata ku butonde gisomesebwe nnyo abavubuka kubanga bebajja okubaawo enkya.

Wabaddewo okukubaganya ebirowoozo okuva bantu abenjawulo omuli Omwami wa Kabaka atwala essaza Mawokota Gabriel Kabonge ategezezza nti bbo bawebwa obuvunanyizibwan nolukusa ku bibira n’entobazi oba olyawo kijja kuyamba.

Mu nteekateeka eno, abaami b’amasaza bonna  baweereddwa endokwa z’emiti zinnansangwa, bagisimbe ku masaza gaabwe era abantu bonna basabiddwa okwongera okusimba emiti okusobola okukuuma Obutonde bwensi .

Wiiki eno etambulidde wansi w’omulamwa ogugamba nti ‘ Obutondebwensi bwamugaso eri ebitonde byonna’.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.