
Bya Francis Ndugwa
Kampala – Kyaddondo
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni awakanyiza eby’okukendeeza ku misolo mu ngeri y’okuyamba bannayuganda ku bbeeyi y’ebintu epaluuse ku bintu eby’enjawulo.
Kinajjukirwa nti mu myezi esatu egiyise ebbeeyi y’ebintu ezze yeyongera nereka abantu abawerako nga tebalina busobozi ku byetuusaako era nebasaba gavumenti ebayambe olwo amafuta bwegeyongedde bwegarinye embeera netabukira ddala.
Bwe yabadde ayogerako eri eggwanga ku mbeera eno, Pulezidenti Museveni yagambye nti tebasobola kusala ku misolo kuba kyabulabe nnyo eri eggwanga.
“Okuggyawo emisolo oba ogugikendeeza ku bintu ebiggyibwa ebweru ebeera nsobi era kyabulabe. Nali ndowooza tukendeeze ku misolo gy’ebintu byetukolera wano nga sukaali, Seminti kuba abantu bwebongera okubigula kibeera kirungi okutuusa lwenatuula ne kabineeti netulaba emisolo gyetuba tugenda okufiirwa,” Museveni bwe yagambye.
Museveni yalaze nti singa baggya emisolo ku seminti bafiirwa emisolo obuwumbi 200, Sukaali obvuwumbi 193 ate obuwumbi 120 ku mitayimbwa, ono agamba nti kino kibeera kya bulabe nnyo wadde embeera y’ebyanfuna mbi nnyo kuba gavumenti tejja kusobola kukola nguudo, masanyalze awamu n’ebirala.
“ Okufiirwa omusolo kijja kukosa embalirira yaffe nebyo byetutegese okukola. Okusomoozebwa kuno kwa kaseera buseera,” Museveni bwe yalambuludde.
Museveni agamba nti eby’okusooka okuyimiriza mu nteekateeka ez’enjawulo nga bakendeeza emisolo okusobola okukendeeza ku bbeeyi y’ebintu sikya magezi.
Okusinziira ku Pulezidenti Museveni wadde ssente ya Uganda egudde, ebbeeyi naye bwotunuulira ekiri mu mawanga amalala nga UK. Spain, US n’ensi z’ Afirika, Rwanda ne Kenya, Uganda ekyakola bulungi.
Ono agamba nti ekizibu ky’ ebbeeyi y’ebintu tekyenkana kizibu kya COVID-19 nategeeza nti singa kibeera kikwatiddwa bulungi eggwanga lisobola okukivunuka.
Museveni yannyonnyodde nti amagezi akadde kano kali mu kusooka kwesonyiwa bintu ebitetaagisa era batunuulire nnyo ebyo ebikolebwa wano nga bweboogerezeganya n’amawanga g’ebweru okulaba bwebasobola okuyambako ku mbeera eriwo.
‘









