Bya Gambuuze Online
Kampala
Palamenti eragidde gavumenti okusazaamu endagaano gyeyakola ne kampuni ya Uganda Vinci Coffee Company Limited (UVCCL), ng’egiwa obuvunaanyizibwa ku kirime ky’ emmwaanyi mu ggwanga.
Akakiiko ka Palamenti ak’ebyenfuna akakulirwa omubaka wa Mbarara City South, Mwine Mpaka kategeezezza nti endagaano eno teri mu mateeka era nekasaba abakungu ba gavumenti abaleetera gavumenti okuteeka omukono ku ndagaano eno babonerezebwe kino kireme kuddamu.
Abateekako omukono ku lwa gavumenti ye Minisita w’ebyensimbi Matia Kasaija, omuteesiteesi omukulu owa Minisitule y’ebyensimbi Ramathan Ggoobi ne Ssaabawolereza w’eggwanga Kiryowa Kiwanuka ate Musigansimbi Enrica Pinetti n’akulira kampuni ya UVCCL.
“Gavumenti eragidde okusazaamu endagaano eno era eddire Palamenti ku kituukiddwako mu myezi 6 nga alipoota eno eteereddwa mu nkola. Gavumenti eragidde okukolagana obulungi ne Uganda Vinci Coffee Company Limited ng’eyita mu kwebuuza ku bakwatibwako nga tennagenda mu maaso nakukola bizineensi na kampuni eno, mu bimpi baddemu bateese bupya,” Mwine Mpaka bwe yagambye.
Okusinziira ku Ssentebe w’akaiiko Mwine Mpaka, eky’okuwa aba UVCCL emmwaanyi kijja kwongera ku bbula ly’emirimu, gavumenti efiirwe omusolo era egobe abantu abamu mu bulimi bw’emmwaanyi.
Akakiiko kazudde nti wadde gavumenti yasaasanya obuwumbi 7 okutereeza ekifo aba UVCCL webalina okuzimba ekkolero nebabatuusiza n’amasannyalaze naye tewali kyamaanyi kyali kikoleddwa ng’ endagaano bwegamba.
Kinajjukirwa nti aba UVCCL baali baalaga mu 2015 nga bwebalina obusobozi okutandikako ku mulimu guno nga kino kyekyawaliriza gavumenti okubatuusaako buli kyebaali beetaaga wabula ekkolero neritazimbibwa ne gyebuli eno nga ekintu kyokka ekiri ku ttaka lino ke kayumba akasulwamu omukuumi ak’ebibaati.
Akakiiko era kakizudde nti eby’okusonyiwa kampuni ya UVCCL nabyo byalimu ebirumira kuba etteeka erisonyiwa emisolo lyebakozesa lyali teririiwo endagaano eno weyakolerwa era ekibiina ekitaba bannamateeka ki Uganda Law Society kyavaayo nekitegeeza nti kino kyali kikyamu.
Mwine agamba nti n’endagaano eno yennyini obutuufu bwayo buliko akabuuza kuba UVCCL teyateekako mukono nga owa Pinetti oguliko gulaga nti yaliwo nga omujulizi.
Akakiiko kasabye gavumenti amaanyi egateeke mu kuyamba kampuni za bannansi 47 eziri mu mulimu gw’okugatta omutindo ku kirime ky’emmwaanyi.
Akakiiko kagamba nti Ssaabawolereza wa gavumenti, Kiryowa Kiwanuka yalemwa okukola omulimu gwe okulambika ebitongole bya gavumenti ng’ennyingo ya Ssemateeka nnamba 119 (4) (b) bwerambika.
Palamenti yakkiriza okutwala alipoota y’akakiiko k’ebyobusuubuzi awamu n’ebyo byonna ebyasembeddwa ababaka abatuula ku kakiiko kano .
Bino webijjidde nga Pulezidenti Museveni yakamala okulayira nga bwatagenda kusazaamu ndagaano eno wabula nasaba wabeewo ebirongoosebwa.