Bya Musasi Waffe
Munnakibiina ki ‘Alliance for National Transformation (ANT)’ eyeesimbyewo mu kalulu k’e Omoro okunoonya anaddira eyali Sipiika Jacob Oulanyah mu bigere, Kizza Oscar, awakanyiza okwewandiisa kwa munnakibiina ki National Resistance Movement (NRM)’ Andrew Ojok Oulanyah nga agamba mwalimu ebirumira.
Mu kwemulugunya kwatutte eri akakiiko k’ebyokulonda, Kiiza agamba nti amannya ga Ojok tegakwatagana nga agali ku ndagamuntu ga njawulo nagali ku mpapula ze ez’obuyigirize era nga alemedde ku kozesa erinnya Oulanyah eritalina weriri ku mpapula ze ez’obuyigirize.
“ Njagala okuteekamu okwemulugunya kwange ku kuwandiisa munnakibiina ki NRM gwebayita ‘Ojok Andrew Oulanyah,’ omuntu ono taliiwo era talina mpapula zonna zabuyigirize zimwogerako era empapula zakozesa za Ojok Andrew O,” Ekiwandiiko kya Kizza bwekisomye.
Kiiza agamba nti tekisoboka kwewandiisa nga amannya agali ku mpapula gawukanira ddala nagali ku ndagamuntu kuba kino kiba kitegeeza nti bano bantu babiri banjawulo.
Okusinziira ku Kiiza ekikolwa ky’ Akakiiko k’ebyokulonda okuwandiisa Ojok mu mbeera bweti kikontana ne tteeka erifuga okulonda ababaka erya ‘Parliamentary Act 2002’ akawaayiro nnamba 13 nga kati ayagala akakiiko k’ebyokulonda kakkirize nti kakola ensobi era kalangirire nti Ojok yawandiisibwa mu bukyamu.
Bwabuziddwa ku bino, Ojok ategeezezza omukutu guno nga bwatanafuna kwemulugunya kuno mu butongole nga tasobola ku kwogerako.
Ojok agamba nti tatidde kuba alina ebisaanyizo byonna n’obusobozi ebyetaagibwa akakiiko k’ebyokulonda era akalulu ajja kukawangula nasaba bwebali mu lwokaano okukomya okupalapalanya.