• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Uncategorized

Poliisi eremeddwa okunnyonnyola amabulire g’abantu 7 ababuzibwawo mu  kalulu ka 2021

Gambuuze by Gambuuze
May 17, 2022
in Uncategorized
0 0
0
Poliisi eremeddwa okunnyonnyola amabulire g’abantu 7 ababuzibwawo mu  kalulu ka 2021
0
SHARES
31
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Kampala

Ekiwayi mu poliisi y’eggwanga ekikola ku kunoonyereza kyegaanye okumanya ebikwata ku bantu  musanvu abagambibwa okutwalibwa ab’ebyokwerinda wakati ng’eggwanga ligenda  okukuba akalulu ka 2021.

Abantu bano bebamu ku 66 abaalabikira ku lukalala lw’akakiiko ka Palamenti akakola u ddembe ly’obuntu mu March w’omwaka guno era ababaka nebateeka gavumenti ku nninga ennyonnyole gyebakuumirwa awamu n’embeera mwebali.

Ku bano kuliko; George Kasumba, Agnes Nabwera, Sarah Nanyanzi, Mathew Kigozi, Mathew Kafeero Ibrahim Chekedi  ne John Damulira.

Kigambibwa nti bano bakwatibwa ab’ebyokwerinda okuva mu bitundu bye Kampala, Mukono ne Masaka mu kiseera ky’ okunoonya akalulu mu 2020.

Akulira ebyamateeka mu poliisi, Erasmus Twaruhukwa ategeezezza nti tewali musango gwonna gwaloopwa ku kubulawo kw’abantu bano naye ekitongole kyabwe ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango kyatandikirawo okunoonyereza nga bafunye  amannya gabwe naye tewali kyamanyi kyebaali bafunye.

Twaruhukwa agamba nti ebimu ku byaweebwayo abaali beemulugunya nga muno mulimu endagiriro za bano, ebifo webabawambira byali tebimala  era bwekutyo okunoonyereza ku wa gyebabulira nekufuuka okuzibu.

Kinajjukirwa nti wiiki ewedde, akakiiko k’eddembe ly’obuntu mu Palamenti kateeka abakulu ku nninga bannyonnyole ani avunaanyizibwa ku mmotoka ‘Drone’ ezigambibwa okweyambisibwa abawamba abantu mu kiseera ky’akalulu kuba kyazuuliddwa nti bano baali bakolagana butereevu neggye lya UPDF n’ekitongole ky’ amakomera.

Wabula Minisita omubeezi ow’ebyokwerinda, Jacob Oboth-Oboth,  yegaanye ebyabadde boogerwa ababaka nti  abakozesa ‘Drone’ balina akakwate ku kitongole ky’amagye ekikessi ekimanyiddwa nga ‘Chieftaincy of Military Intelligence (CMI)’.

Mu March w’omwaka guno akakiiko ka Palamenti akaali kakuliddwa Fox Odoi, kalagira Minisita w’ebyokwerinda eyaliko, Jim Muhwezi oluleeta abantu 7 abali babuzibwawo mu mwaka 2020 kuba baalina eddembe nga bannayuganda okubeera abalamu n’ensi okumanya amayitire gaabwe, bweyali annonnyola Muhwezi yategeeza nga gavumenti bweri mu kunoonyereza ku nsonga eno.

Era March nga 4, 2021, Minisita w’ensonga ez’omunda mu ggwanga, Jeje Odongo yafulumya  olukalala lwa bantu 177 abaali batwalibwa ab’ebyokwerinda okuva mu bitundu ebyenjawuko wabula ono aba NUP bavaayo nebategeeza nti abawambibwa baali bangi okusingako awo era nebaleeta olukalala lwa bantu 680 abaali babuziddwawo.

Share this:

Tags: Erasmus TwaruhukwaFox OdoiJacob Oboth-ObothJeje OdongoJim MuhweziUganda Police ForceUpdf
  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.