
Bya Musasi Waffe
Nakasongola
Abantu 3 bafiiriddewo n’abalala 9 nebatwalibwa mu ddwaliro nga biwalattaka emmotoka ya Takisi nnamba UAX 303F mwebabadde batambulira bweyabise omupiira neyeefuula emirundi esatu ku luguudo oluva e Gulu okudda e Kampala.
Akabenje kano kaguddewo ku Lwokubiri ku makya mu kitundu ekimanyiddwa nga Migyera era okusinziira ku poliisi y’ekitundu kya Savannah emmotoka eno yalemeredde omugoba waayo oluvannyuma lw’okwabika omupiira.
Omwogezi wa poliisi mu kitundu kino Isah Ssemwogerere, akakasizza akabenje kano nagattako nti abafudde kuliko abakyala 2 n’omwana omu, wabula ebibakwatako bibadde tebinafunika.
Okusinziira ku Ssemwogere abafunye ebisago baddusiddwa ku ddwaliro lya St Francis health centre okufuna obujjanjabi obusookerwako ate emirambo negitwalibwa mu ggwanika lya Nakasongola Health centre IV.
Bino webijjidde nga omwogezi wa poliisi y’ebidduka, Faridah Nampiima, yakamala okutegeeza bannamawulire nti bakukwatagana n’ekitongole ky’omutindo ekya Uganda National Bureau of Standards okukebera omutindo gw’ emipiira egikozesebwa ku mmotoka kuba bafunye amawulire nti bamakanika baddamu nebazza emipiira emikadde ku katale.
Nampiima agamba nti bafunye obubenje bungi nga buva ku mipiira kwabika era abantu abasoba mu 30 balumiziddwa. Okwogera bwati, yabawadde awa alipoota nategeeza nti obubenje 411 bwebafunye mu wiiki emu mu ggwanga lyonna nga buno bwafiiriddemu abantu 73 kwabo 437 ababubaddemu.
Okusinga obubenje buno bwabadde mu disitulikiti ye Mbarara, Nakasongola, Mubende, Budaka, Pakwachi ne Mpigi takisi gyeyayabikidde omupiira neleka ng’erumizza abawerako.









