
Bya Ssemakula John
Tanzania
Pulezidenti w’ekibiina ki National Unity Platform (NUP), Robert Kyagulanyi, amanyiddwa nga Bobi Wine asabye ekibiina ekivuganya gavumenti mu Tanzania ki Demokrasia na Maendeleo (CHADEMA) okubayambako okuggyako obukulembeze bwa Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni.
Kyagulanyi okusaba kuno akukoze ku Lwakuna bweyabadde ayogerera mu Ttabamiruka w’ekibiina ki CHADEMA gyeyayitiddwa ng’omugenyi omukulu.
Mu kwogera kwe, Bobi Wine yategeezezza nti abantu be Tanzania bakoze nnyo okuyambako bannayuganda mu mbeera yonna naddala okulwanyisa obufuzi bwa bannakyemalira n’okugezaako okutumbula nenfuga eya Demokulaasiya.
“Obumu buno bwe bwayatuyamba okufuna obwetwaaze okuva ku bafuzi b’Amatwale okuva mu 1961 Tanzania bweyefuga, Uganda mu 1962 ne Kenya mu 1963,” Kyagulanyi bwe yagambye.
Okusinziira ku Kyagulanyi singa bakozesa omutima gwebalina okuggyako Idi Amin mu 1970 basobola bulungi okuyambako bannayuganda okuggyako Museveni kuba akolera ddala ebyo Amin byeyali akola.
Ono agamba nti wadde ekibiina ki CHADEMA kikoze nnyo okutuusa Demokulaasiya n’okulwanirira enkyukakyuka mu Tanzani naye okufananako n’amawanga amalala basanze olusozi okutuukiriza kino.
“Ssentebe w’ekibiina Freeman Mbowe yakayimbulwa mu kkomera gyamaze emyezi 7 ku misango egyekuusa ku by’obufuzi n’obutujju. Omumyuka we Tundu Mughwai Lissu, akyali mu buwang’anguse oluvannyuma lw’okusimattuka okutemulwa,” Bobi Wine bwe yalambuludde.
Kyagulanyi yatenderezza bannakibiina ki CHADEMA olw’okuyimirirawo mu mbeera yonna nebasobola okulwanirira eddembe ly’ abantu babwe.
Bino webijjidde nga Pulezidenti wa Tanzania Samia Suluhu Hassan, yakakyaluka okuva mu Uganda gyabadde ku bugenyi bw’ennaku ebiri gyabadde nga asisinkana Pulezidenti Museveni.
Abakulu bano bakubaganyiza ebirowoozo ku masanyalaze, obusuubuzi, entambula n’ebyobulamu wakati w’amawanga gombi awamu n’engeri gyebasobola okunywezaamu enkolagana.









