• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

UPDF egamba terina ‘Safe House’ yonna mu ggwanga

Gambuuze by Gambuuze
May 11, 2022
in Amawulire
0 0
0
UPDF egamba terina ‘Safe House’ yonna mu ggwanga
0
SHARES
39
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Palamenti – Kampala

Minisita omubeezi ow’ebyokwerinda, Jacob Oboth Oboth asabye ababaka ba Palamenti abalina amawulire agakwata ku buduukulu bwa ‘Safe House’ nawa wezisangibwa okumutegeeza basobole okwongera okunoonyereza kuba okusinziira ku kyamanyi, eggye lya UPDF terina ‘Safe House’ yonna mu ggwanga.

Minisita Oboth yabadde akulembeddemu bagenero ba UPDF okusisinkana akakiiko ka Palamenti akakola ku ddembe ly’obuntu ku Lwokubiri okutangaaza ku bigambibwa nti eggye lyefudde ekirala mu kulinyirira eddembe lya bannansi.

“Mpulidde nnyo ebigambo by’obuduukulu bwa ‘Safe House’ nga sinafuuka na Minisita anye kyenyinza okubagamba nti tetulina buduukulu buno era twagala akakiiko kano katuyambe okuzuula oba waliwo abantu abalina  obuduukulu buno nga kino bakikola kulwa ggye lya UPDF,” Oboth Oboth bwe yagambye.

Akakiiko kano kali mu kunoonyereza ku bikolwa by’okulinyirira eddembe ly’obuntu okuva mu bitongole by’okwerinda era wano kabadde kayise Minisita w’ebyokwerinda n’ensonga z’abazirwanako okunnyonnyola ku nsonga ya ‘Safe Houses’ nawa webazisangibwa.

Wabula bino omubaka wa Nakaseke Centrala, Allan Mayanja abiyise bya kubuzaabuza era tebimatiza nasaba eggye lya UPDF okwongera okunoonyereza ku nsonga eno kuba obuduukulu buno bukozesebwa okutulugunya bannansi.

Ssentebe w’akakiiko kano, Odoi yagambye nti waliwo webatuuse ku nsonga y’obuduukulu buno kuba alipoota eyakolebwa ekitongole ekirwanirira eddembe ly’obuntu ki Uganda Human Rights Commission (UHRC), era eriko ebikulu byesongako ku ‘Safe Houses’ zino.

“ Aba UHRC batutegeeza nti obuduukulu bwonna obubadde bumanyiddwa bwaggalwa era tetunafuna lukalala ku bulala gyebuli. Tekibeera kya bwenkanya okusigala nga tukanda Minisita atuwe olukalala lwa ‘Safe Houses’ bwezibeera zaggalwa,” Odoi bwe yalambise akakiiko.

Guno si gwe mulundi ogusoose Palamenti okunoonyereza ku buduukulu buno era mu 2019 nga ensonga eno enoonyerezebwako eyali Minsita  w’ebyokwerinda Elly Tumwine, yakkiriza nti kituufu ebifo bino  bwaliyo olw’ensonga z’ebyokwerinda naddala ez’obukessi era baali babukozesa okukuumira abajulizi ab’enkizo ku misango egy’enjawulo.

Akulira eby’eddembe ly’obuntu mu UPDF, Col Deo Karikona, yawolereza ekya UPDF okuwozesa abantu ba bulijjo mu kkooti y’amagye nategeeza nti kino kiri mu tteeka lya UPDF 2005 akawaayiro nnamba 119(g).

Okusinziira ku tteeka lino omuntu yenna wadde si munnamagye naye singa asangibwa nga ayambyeko oba nga yenyingidde mu bikolwa by’ekijaasi oba nasangibwa n’ebintu by’amagye aba alina okuvunaanibwa mu kkooti z’amagye.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.