
Bya Francis Ndugwa
Bulange – Mmengo
Kamalabyonna Charles Peter Mayiga asabye abantu okusigala nga balima emmwaanyi wakati mu kusomoozebwa okuliwo nga gavumenti eyagala okuzikwasa Musigansimbi owa kampuni ya Vinci Coffee Uganda Ltd. yaba azivunaanyizibwako mu ggwanga kuba ly’ekkubo lyokka erigenda okubaggya mu bwavu.
Okulambika kuno Katikkiro Mayiga akukoze ku Lwokubiri bw’abadde atikkula oluwalo okuva mu bantu ba Kabaka ab’eggombolola ya Mutuba II Butemba ne Mutuba IX Mulagi okuva e Ssingo mu Bulange e Mmengo.

“Wadde ebitusomooza bingi, naye tulina okusigala nga tukola. Emmwaanyi tuzirime awo lwetujja okusobola okwesalirawo oba tulya muwogo oba tulya migaati,” Owek. Mayiga bw’annyonnyodde.
Mayiga anyonyodde nti wadde endagaano eno erimu ebirumira bingi naye abantu ba Kabaka tebalina kutya kulima mmwaanyi kubanga ly’ekkubo Obwakabaka bweritunuulidde okusobola okusitula embeera z’abantu wonna mu Buganda.
Ono alaze obwenyamivu olw’engeri gavumenti gy’erekereddemu bannayuganda nga mukifo ky’okubakwasizaako ate ekoze kyakubalamu maanyi n’ebagobaganya mu mirimu egy’enjawulo nga ekikyasembyeyo kye ky’okuwa omugwira emmwaanyi.

Mukuumaddamula asinzidde wano nasaba bannaddiini bonna okwetaba mu nteeekateeka zonna ez’Obwakabaka era bazaagazise abantu olwo Buganda esobole okudda ku ntikko era neyeebaza abaleese Oluwalo olw’okwefiiriza nebawaayo ku kitono kyebalina.
Minisita Omubeezi owa Gavumenti Ez’ebitundu Joseph Kawuki akuutidde abantu ba Kabaka bulijjo okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe nga bakiika embuga.
Ye Omwami wa kabaka omulamulirako ezsaza Singo Mukwenda David Nantajja agambye kibakakatako nga abakulembeze okugatta abantu ba Kabaka era nawera okutwala enteekateeka eno mu maaso.
Obukadde bw’ensimbi bubiri n’ekitundu bwebuleteddwa abantu ba Kabaka okuva mu ggombolola bbiri ezikola essaza Ssingo okubadde Butemba ne Mulagi.









