
Bya Ssemakula John
Ankole
Omutaka w’ekika ky Engabi ennyunga Daniel Kiwana akalaatidde abantu b’ Ekika kino abawangaalira mu bitundu bye Ankole okusigala nga bwaulize eri Nnamulondo okusobola okukuuma ennono ya Buganda.
Okusaba bwati, Omutaka Kiwana abadde akulembeddemu bazzukulu be abawangaalira mu bitundu by’ Ankole okumanyagana n’okutema empenda ezitwala ekika kyabwe mu maaso ku mukolo ogubadde e Kagango mu disitulikiti ye Sheema.
“Tolina bwogamba Ssaabasajja Kabaka nti omwagala nnyo ng’ekika ekikuyunga ku Kabaka ebyakyo tebikukwatako era tobimanyi. Tusaba muwagire emirimu gy’ekika egikolebwa, mumanye ebifa ku kika kyammwe ate mukyenyumirizeemu,” Omutaka Kiwana bw’annyonnyodde.

Kigambibwa nti ab’Ekika ky’Engabi ennyunga mu Ankole basenga mu kitundu kino mu mwaka gwa 1926 nga bava e Kyesiiga, Kyanamukaaka mu Buddu mu luggya lwa Kikappwa.
Omutaka Kiwana Daniel abebazizza olw’obutaseesetuka kuva ku nnono na buwangwa bwabwe nabasaba okunywerera ku Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II n’okwongera okwenyigira mu nteekateeka zobwakabaka zonna.
Omwogezi w’ekika kino Stephen Muyunga akubirizza bazzukulu ba Kannyana okunyweza obumu, bawerere abaana nokutuukiriza obuvunanyizibwa bwabwe ate babangewo enteekateeka zokwekulaakulanya.
Bano badduukiridde enteekateeka y’okussa ekibumbe ky’omuziro gwabwe ku luguudo Kabaka Anjagala nga bwebatyo nebasonda emitwalo 88 mu buliwo ate ensuubize 1,990,000.

Ku bugenyi buno Omutaka abadde awerekeddwako, omwogezi era omuwanika w’ekika Muyunga Stephen, amyuka omuwanika w’ekika omukyala Kaddu Nambi, Ssalongo Lubega Lukka atwaala ebyobuwangwa n’ennono mu kika, omumyuka owookubiri ku lukiiko lwebyemizanyo mu kika omukyala Nakyonddwa stella nabalala.









