
Bya Ssemakula John
Masaka – Buddu
Kkooti ejulirwamu ekakasizza munnakibiina kya National Unity Platform (NUP) Christine Ndiwalana Nandagire, ku kifo ky’omubaka wa Bukomansimbi North, nesazaamu ensala ya kkooti enkulu eyali yalaga ng’ ono bw’atalina buyigirize bumala kubeera mubaka.
Kinajjukirwa nti munnakibiina kya NRM, Ruth Katushabe yatwala Ndiwalana mu kkooti nga amulanga obutabeera nampapula za buyigirize ezeetagisa okubeera omubaka wa palamenti era omulamuzi wa kkooti enkulu e Masaka nakkanya naye nasazaamu okulondebwa kwa Ndiwalana ku kifo ky’omubaka wa Bukomansimbi North nalagira akalulu kaddemu kategekebwe.
Ndiwalana yakalambira nti yasoma era naddukira mu kkooti ejulirwamu.
Ku Lwokusatu abalamuzi basatu aba kkooti ejulirwamu nga bakulembeddwa Geoffrey Kiryabwire, Steven Musota ne Christopher Gashirabake bakkanyiza kimu nti Christine Ndiwalana yasoma era alina ebisaanyizo ebyetaagisa okubeera omubaka era nebamulangirira ng’ omubaka omulonde owa Bukomansimbi North.
Bw’abadde ayogera ku nsala ya Kkooti ejulirwamu, Ndiwalana ategeezezza nti ono abadde Katonda amusobozeseza okununula obuwanguzi bwe era nasaba munne ajje bakolere wamu.
Abalamuzi mu nsala yabwe bategeezezza nti Katushabe talina nsimbi zonna zagenda kuliyirira Ndiwalana, ekintu Ndiwalana kyakkiriza nga agamba nti kijja kubayamba okukolera awamu.
Mu ngeri y’emu kkooti eno egobye omusango gwa Fredrick Munyirwa gweyatwalayo nga awakanya okulondebwa kwa Moses Walyomu Muwanika ng’omubaka wa Kagoma mu Busoga nga agamba nti yali yeewandiisa mu bukyamu.
Abalamuzi balagidde Munyirwa aliyirire Walyomu ensimbi zonna zasaasaanyiza mu musango era Walyomu agenze yewera nga bwalina okuzimuwa kuba amumalidde ebiseera.
Kkooti eno ejulirwamu era ekakasizza Charles Komakech ku bubaka bwa Aruu mu Acholi bwetyo nesazaamu ensala ya kkooti enkulu e Gulu eyakkanya n’eyali omubaka w’ekitundu ekyo Odong Otto okutegeeza nti Komakech teyasooka kulekulira kifo kye eky’obusawo mu ddwaliro e Butabika nga agenda okwesimbawo.
Kati Otto alagiddwa okuliyirira Komakech ensimbi zonna zatadde mu musango guno.
Kkooti eno ekyagenda mu maaso n’okusala emisango egy’enjawulo nga bannabyabufuzi baajulira nga bawakanya ensala ya kkooti enkulu mu bitundu ebimu.
Kinajjukirwa nti emisango gy’ebyokulonda gino tegisukka kkooti ejulirwamu kweyongerayo mu kkooti ensukkulumu.









