
Bya Musasi Waffe
Kampala
Amyuka Pulezidenti w’eggwanga era omubaka omukyala owa disitulikiti ya Katakwi mu Palamenti, Jessica Alupo asabye ababalirizi b’ebitabo okwongera okuyambako okulwanyisa enguzi ezing’amizza eby’enkulaakulana mu ggwanga.
Okusaba kuno yakukoledde ku mukolo gw’olukungaana lw’ Ababaririzi b’ebitabo olwayindidde ku Speke Resort e Munyonyo mu Kampala.
Alupo yannyonnyodde nti gavumenti emanyi bulungi omulimu Ababalirizi b’ebitabo gwebakola okulaba nti wabaawo obwesimbu mu ntambuza y’emirimu awamu n’okukendeeza ku nguzi n’obukenuzi, abantu basobola okukola emirimu mu ngeri ey’ekikugu.
Ono agamba nti enguzi ezizza eggwanga emabega era netwalako ne bannansi ebirooto byabwe. Alupo alaze nga gavumenti bwelaze nti neetegefu okulwanyisa enguzi n’okuteekawo obwerufu mu ntambula y’emirimu.
Alupo yakikaatiriza nti kikulu okumanya enguzi weesimbye amakanda, ani agirya awamu n’engeri gyetandikamu okusobola okugirwanyisa era nasaba bakozese amakubo gonna agasoboka okugimalawo.
Ono yalaze nti obuzibu bwebasinze okusanga nga gavumenti mu kulwanyisa enguzi kwekuba nti enteekateeka erina okuleetawo obwerufu ekyali nnafu, waliwo ekkobaane awamu n’ebizibu ebirala. Bino agamba gavumenti erina okubisalira amagezi okuleetawo enkulaakulana ne bannansi basobole okubeera obulungi.
Alupo alaze amateeka ag’enjawulo agayisiddwa okusobola okulwanyisa enguzi nga ku gano kuliko, ‘Public finance management Act 2015, the local government Act, public procurement and disposal of public assets Act ne financial institutions Act’ awamu n’amalala nga gonna gagendereddwamu kumalawo kizibu kino.









