• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Museveni n’ Ababaka ba NRM bakkaanyizza okuddamu okwetegereza endagaano y’Emmwaanyi

Gambuuze by Gambuuze
April 27, 2022
in Amawulire
0 0
0
Museveni n’ Ababaka ba NRM bakkaanyizza okuddamu okwetegereza endagaano y’Emmwaanyi
0
SHARES
67
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Musasi Waffe

Kampala

Pulezidenti Yoweri Museveni n’Ababaka b’ekibiina kya NRM mu Palamenti bakkiriziganyizza okuddamu beekenneeye endagaano  gavumenti gy’eyakola n’ Omuyitale omwali obukwakkulizo obumusonyiwa omusolo okumala emyaka 10 wamu n’okubeera nti ye yekka avunaanyizibwa ku kugula n’okutunda emmwaanyi.

Ssaabawolereza wa gavumenti,  Kiryowa Kiwanuka era akulira abawi b’amagezi eri gavumenti era omu ku bateeka emikono ku ndagaano eno n’omuzungu Enrica Pinetti owa kampuni ya ‘Uganda Vinci Coffee Company (UVCC)’, eggulo yategeezezza nti talaba kikyamu mu ndagaano eno.

Olunaku lw’eggulo Pulezidenti Museveni era ssentebe w’ekibiina kya NRM yayise olukiiko lw’ akabondo k’ekibiina ku kisaawe e Kololo okubaako ensonga enkulu zebateesaako  omuli obutabanguko obuli e Karamoja, ebikwekweto bya UPDF ku bayeekera ba ADF ebigenda mu maaso e Congo awamu n’endagaano y’emmwaanyi ewakanyiziddwa, Obwakabaka bwa Buganda, abamu ku baminisita be, ababaka awamu n’abantu abali mu mulimu guno ogw’emmwaanyi.

Minisita w’ebyobulimi Frank Tumwebaze nga yavunaanyizibwa obuterevu ku mmwaanyi yavaayo nategeeza ensi nga ayita ku mukutu gwe ogwa Twitter nga bw’atalina kyamanyi ku ndagaano eno era n’asaba bannamawulire obutamubuuza bigikwatako.

Omulala ye Minisita omubeezi ow’ebyokusiga ensimbi mu ggwanga, Evelyn Anite nga nayo yavaayo nategeeza nga bwatamanyi bulungi bikwata ku ndagaano eno, kino kyaddirira olukiiko olwali lukubirizibwa Ssaabaminisita Robinah Nabbanja eno nayo baminisita abamu bavaayo okuwakanya obumu ku buwaayiro mu ndagaano eno.

Endagaano esonyiwa kkampuni eno eya UVCC ebbanga lya myaka 10 nga tesasula musolo, ettaka ery’obwerere eriwera yiika 25 e Namanve mu kibangirizi kya makolero, amasanyalaze n’amazzi ku ssente ezawansi.

Obuwaayiro buno bwebumu n’akakiiko ka Palamenti ak’ebyobusuubuzi bwe kaatandise edda okunoonyerezaako

Mu lukiiko olwatudde eggulo, ensonda zigamba nti Pulezidenti Museveni yasabye ababaka okwekenneenya obulungi endagaano eno kuba egenda kwongera ku ssente Uganda zefuna mu mmwaanyi kiyambe eby’enfuna okweyimirizaawo ekintu ky’abadde alwanako okuva lweyajja mu buyinza.

“Museveni alabudde ababaka okukomya okwogera ku nsonga nga tebannafuna mawulire matuufu kuba NRM kyeyalwanirira kwekusitula ebyenfuna bya bannayuganda era ajja kufaafaagana n’omuntu yenna eyeekiiika mu kkubo lye,” Omu ku babaka abeetabye mu lukiiko luno bwe yagambye.

Okusinziira ku babaka ababadde mu lukiiko luno, Museveni yabasabye bawagire endagaano eno naye oluvannyuma lw’abamu okuwakanya obuwaayiro obulimu yasabye Ssaabawolereza Kiryowa okutunula mwebyo byebatakaanya nabyo.

Wabula Kiryowa agamba nti wadde ababaka balemeddwa okukaanya ne Pulezidenti ku nsonga eno naye mu ndaba ye, endagaano eno tewa muzungu ono kuba nga yavunaanyizibwa yekka ku mmwaanyi nga ababaka bwe bagamba.

Omubaka w’ekitundu kya Elgon, Gerald Nangoli  yannyonnyodde nti  bakaanyiza nti endagaano eno erimu ebirumira era tesobola kukolera balimi bweba esigadde nga bweri.

Omwogezi w’akabondo kano, Bradon Kintu yakakasizza nti eby’okwagazisa abantu endagaano eno bakyabiwumuzaamu nga bwebalinda ttiimu y’abakugu eyateereddwawo okwekenneenya endagaano eno.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.