Bya Ssemakula John
Kampala
Bannayuganda abasuubula ennuuni batabukidde gavumenti olw’okutiitiibya abagwiira nenyigiriza bannansi ate nga bebasinga okubeera n’omugabo ku ggwanga lino ekintu ekyongedde okubakuumira mu bwavu n’okuzza emabega enkulaakulana.
Bano abeegattira mu kibiina ki ‘Uganda Fish Maw Traders Association’ bategeezezza nti enkola eriwo ey’okuwa abagwiira olukusa okugula n’okutunda ennuuni okuzitwala ebunaayira erina okukoma mu bwangu oba ssi kyo bagenda kwekalakaasa.
Amyuka Ssentebe w’abasuubuzi bano Jackson Yiga Musisi ne Ssaabawandiisi Richard Matovu bagamba nti waliwo abakungu mu gavumenti abakikola mu bugenderevu okulemesa bannansi obusuubuzi bw’ennuuni ku myalo egy’enjawulo.
Balumiriza nti ttenda zonna ziweebwa bagwiira olwo bannansi nebateekebwako obukwakkulizo obungi ennyo okusobola okubalemesa omulimu guno kyebagamba nti bagenda ku kilwanyisa kuba tekirina gyekitwala ggwanga era bakwekalakaasa mu bbanga lya wiiki bbiri singa ensonga eno tekolwako mu bwangu.
Oluvannyuma lw’ebigambo okuyiting’ana ku nsonga eno, Minisita avunaanyizibwa ku buvubi mu ggwanga Hellen Adoa, yavaayo nategeeza nti tewali mugwiira yenna yaweereddwa layisinsi kusuubula nnuuni wabula natangaaza nti ekiseera kyebalimu kya kwekeneenya kkampuni zonna eziri mu mulimu guno nga mwezo zebatunuulidde mwemuli neza bannayuganda ezaateekamu okusaba.
Minisita Adoa agamba nti ennuuni kyekimu ku byongedde okuleetawo ebikolwa ebityoboola kw’ennyanja olw’abantu abaagala ssente ez’amangu.
Ennuuni ya ttunzi nnyo ku katale k’ensi yonna nga kiro yaayo egula wakati wa ddoola za America $450 ne $1000 (shs1.5 m – 3.6m) olw’ebintu ebingi ebigikolebwamu wabula munda mu ggwanga kiro egula wakati w’emitwalo 16 na 35.
Bino webijjidde nga waliwo Abayindi nebasaba gavumenti ewere bannansi okulya empuuta zisigale kutundibwa wabweru w’eggwanga awamu n’okuziggyamu ennuuni ekintu bannansi gyebawakanya ennyo.