
Bya Ssemakula John
Entebbe – Busiro
Abamu ku bagenyi ababadde batuuka mu ggwanga okwetaba ku kabaga ka mutabani wa Pulezidenti Yoweri Museveni ababadde batambulira mu nnyonyi ya Rwandair basimattuse okufiira mu kabenje k’ennyonyi bwevudde ku luguudo lwayo nga egezaako okukka ku kisaawe Entebbe.
Ennyonyi eno nnamba 464 ebaddde eva Kigali era obunkenke buno bubaddewo ku ssaawa 11 ez’okumakya.
Okusinziira ku kiwandiiko ekifulumiziddwa aba Uganda’s Civil Aviation Authority (CAA), kitegeezezza nti akabenje kano kavudde ku mbeera ya budde embi.
“Abasaabaze bonna banunuddwamu bulungi era embeera yonna eri bulungi,” Ekiwandiiko kya CAA bwe kitegeezezza.
Aba CAA bagamba nti oluguudo ennyonyi kwezikkira lusigadde lukozesebwa ennyonyi entonotono nga bwebakola ku ntegeka z’okuggyayo ennyonyi eno gyewabidde olwo buli kimu kiddemu kitambule bulungi era kkampuni ya RwandAir ekakasizza akabenje kano netegeeza nti abasaabaze bonna bali bulungi.
Akabenje akeekika kino kaliwo mu mwaka gwa 2019 ennyonyi ya Ethiopian Airlines, ey’ekika kya ET338 eyali eva mu Addis Ababa bweyava ku luguudo ng’eka ku kisaawe Entebbe.
Mu kabenje kano akabaddewo olwa leero tewali muntu yenna alumiziddwa era kigambibwa nti abasaabaze 20 ku 60 ebadde mu nnyonyi eno babadde bagenyi abaayitiddwa okwetaba ku kabaga ka Gen. Muhoozi Kainerugaba nga ajaguza okuweza emyaka 48.









