• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Buganda yakuddamu okugema abantu Corona – Katikkiro Mayiga

Gambuuze by Gambuuze
April 12, 2022
in Amawulire, Eby'Obulamu
0 0
0
Buganda yakuddamu okugema abantu Corona – Katikkiro Mayiga
0
SHARES
49
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Francis Ndugwa

Bulange – Mmengo

Katikkiro Charles Peter Mayiga ategeezezza nti Obwakabaka bwakuddamu okugema abantu Lumiima mawuggwe (Corona) okwekikungo okusobola okutuula ekirwadde kino ku nfeete.

Bino Owek.  Mayiga abyogeredde mu lukung’aana lwa bannamawulire olutudde mu Bulange ku Lwokubiri okulambulula ku nteekateeka eno.

” Mujje babageme, temutya eddagala teririimu butwa wadde okubagaana okuzaala, okuva ennaku z’omwezi nga 20 – 23 April tugenda kuba tugema wano mu Bulange. Temweyibaala nti abalwadde bakendedde naye tekitegeeza nti obulwadde bwaggwayo,” Owek. Mayiga bw’alambuludde.

“Lumiimamawuggwe bulwadde bwa bulabe era buli muntu ali wano yamukosa nga abamu bafiirwa ababwe, abalala balwadde, abamu tebanabakutereera bulungi” Kamalabyonna Mayiga bw’agasseeko.

Katikkiro Mayiga agamba nti abantu bwebatabeera balamu tewali kyebasobola kukola era n’enteekateeka zonna ez’oku bakulaakulanya zigwa butaka.

Owek. Mayiga annyonnyodde nti abantu basaanye okukomya okutya nti eddagala lino lirimu obutwa ate abalala nga balowooza nti lisobola okubagaana okuzaala nabasaba okutwala eky’okulabirako kya Ssaabasajja Kabaka  eyagemebwa ng’ensi yonna eraba.

Ono asabye okusigala ku biragiro by’ abasawo okutuusa lwebalirangirira ekisembayo ku kirwadde kino ekitadde ensi yonna ku bunkenke.

Ye Minisita w’ebyobulamu n’embeera z’abantu b’ Omutanda, Owek. Dr. Prosperous Nankindu ategeezezza nti  ku mulundi ogwasooka mu Novemba 6-7 bagema abantu abaali bakunukkiriza mu 8000 nga bakolagana  ne KCCA eyawaayo abasawo abakugu.

Owek. Nankindu  annyonnyodde nti okugema tekubeera kwa Baganda bokka naye abantu ba Kabaka bonna kuba ekirwadde kino tekisosola.

Ono asabye abantu abatanagemebwa mulundi gwakubiri okuginona kuba kisobola okumubeerera obuzibu okulwanyisa COVID-19  era nabo abatuuse emyaka egigemebwa ekirwadde kino nabo okukozesa omukisa guno.

Enteekateeka y’omulundi guno ewagiddwa ab’ekitongole kya Kampala Capital City Authority n’ekitongole ki  FHI360.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist