
Bya Ssemakula John
Kampala
Akulira ekibiina kya National Unity Platform (NUP), Robert Kyagulanyi amanyiddwa nga Bobi Wine alangiridde bw’amaliridde okuggya Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni mu buyinza wadde nga yafiirwa obuwanguzi bwe mu kalulu akawedde aka 2021.
Bino Kyagulanyi yabyogeredde Sweden mukibuga Geneva mu lukung’aana lwa ‘Geneva Summit 2022’ ku Lwokusatu olwabadde lukwata ku demokulaasiya n’eddembe ly’obuntu.
Mukwogera kwe, Kyagulanyi yagambye nti Pulezidenti Museveni alinyiridde eddembe ly’abantu ebitagambika mu myaka 36 gyamaze mu buyinza.
Ono abazungu yabatotoleredde ennaku gyalabye mu bulamu bwe n’ebikolobero ebimukoleddwako abakulu mu gavumenti omubadde, okumutulugunya, okusibwa mu makomera n’okutta abamu ku bawagizi be nga byonna bikoleddwa gavumenti ya Pulezidenti Museveni.
“Enkumi n’enkumi z’abantu baffe bawambibwa ab’ebyokwerinda abali batambulira mu mmotoka okutali nnamba zebayita ‘Drone’. Wenjogerera bangi tebaddangamu kulabika ate abalala bali mu makomera olw’okumpagira n’ekibiina kyange,” Kyagulanyi bwe yategeezezza.
Kyagulanyi era agamba nti Museveni asusse okufugira Uganda ku mukono gw’ekyuma nga ayungirira bannansi n’abayizi abajaasi era buli amuwakanya asibwa, atulugunyizibwa oba okuttibwa.
Bobi Wine agamba nti wadde biri bityo naye olw’obuvumu bw’abawagizi be ekibiina kye kisobodde okufuuka ekyamanyi era kigenda mu maaso n’okuwakanya obufuzi bwa Museveni nakakasa nti ekibiina kye tekigenda kuwummula okutuusa nga kiwangudde entebe y’Obwapulezidenti.
“Tetwawanika era tetugenda kuwanika. Sinze nali nvuganya Museveni naye bannansi era kino kyakolebwa omulundi ogusookedde ddala, tewali bya mawanga oba madiini, ffenna twali twogeza eddoboozi limu nti , “People Power is Our Power.” Bobi Wine bwe yannyonnyodde.
Olukung’aana luno lwayindidde wansi w’omulamwa, “Engeri y’okuggyako Nnakyemalira” nelukuba ttooci ku ddembe ly’obuntu engeri gyerikwatiddwamu mu nsi ez’enjawulo nekirina okukolebwa okulaba nga lissibwamu ekitiibwa.









