
Bya Ssemakula John
Bulange – Mmengo
Abazadde wonna mu ggwanga basabiddwa okukola buli kisoboka okugunjula obulungi abaana kisobozese ebiseera by’eggwanga eby’omu maaso okubeera ebitangaavu kuba bingi birabise nga bisobye olw’enkyukakyuka y’ensi.
Obubaka buno bubaweereddwa amyuka Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda, Owek. Ahmed Lwasa bw’abadde atikkula oluwalo okuva mu bibiina by’ abakyala okuva mu masaza ag’enjawulo okuli; Busiro, Kyaddondo, Kyaggwe ne Kabula mu bimuli bya Bulange kulwa Katikkiro Charles Peter Mayiga.
“Buli muntu mu makaage yandiyagadde okubeera n’omwana omulungi naye oba kigaanira wa tetumanyi, ensonga eyo nkulu nnyo ku ludda lwammwe nga abakyala kubanga mulina okulambika abaana okuviira ddala ku lunaku olusookera ddala ppaka ku ssaawa esembayo. Bwoba ogenze okukyalira omwana mubuulire ebigambo ebibazimba kuba buli muntu asoma abeera alina ekigendererwa”
Owek. Lwasa abasabye a okwettanira ebibiina okusobola okwekulaakulanya mu ngeri ezitali zimu bakomye okutwalayo ekinyumu era bafube okulaba nga eddiini ebukala mu maka gaabwe okusobola okukuza abaana obulungi.
Minisita Omubeezi owa Gavumenti ez’ebitundu, Owek. Joseph Kawuki asabye abazadde okwongera okwefumitiriza ku ngeri abaana gyebakuzaamu abaana babwe.
Omwami wa Kabaka atwala essaza Kyaddondo, Owek. Agnes Nakibirige Ssempa yeebazizza nnyo abakyala bano owokujjumbira enteekateeka z’Obwakabaka zonna.
Essaza lye Busiro lyeliridde mu malala akendo olwaleero nga lireese obukadde 4 nemitwalo 90, Kyaddondo neddako 4 nemitwalo 68 ate yo Kyaggwe ereese emitwalo 73.









