
Bya Francis Ndugwa
Bulange – Mmengo
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye n’akola enkyukakyuka mu baami be Abamasaza n’Abamyuka, abamu ku bano asiimye bawummule era obuvunaanyizibwa bwabwe n’ebifo byabwe nabironderamu abantu abaggya.
Okusinziira ku kiwandiiko ekifulumiziddwa Obwakabaka ku Lwokubiri nga 29/03/2022 ekiriko omukono gwa Katikkiro Charles Peter Mayiga kiraze nti Omutanda asiimye abamu ku bano bawummule wakati mu kubeebaza olw’obuweereza bwabwe eri Buganda.
Ku bawummudde kuliko abadde ow’essaza lya Kabula, Mbuubi Ssaalongo Lawrence Kayiza, omumyuka ow’okusatu owa Mukwenda John Vianney Kasumba, Omumyuka ow’okubiri owa Luweekula, Ssaalongo Eri Mbalirwa Ssekayitan’ Omumyuka wa Lumaama ow’okubiri Margret Kamunaana.
Era Omutanda asinzidde wano nalonda anadda mu bigere by’ Omumyuka asooka owa Kimbugwe oluvannyuma lw’okufa kwa Dr, Joseph Kirabo.
Abaami abaggya abalondeddwa kuliko Mbuubi omuggya Micheal Wamala Mboowa, Mw. Henry Kiberu nga ye mumyuka asooka Mbuubi, Mw. Deo Kagimu alondeddwa okubeera omumyuka owookusatu owa Mukwenda, Omw. Edward Ssanyu Kyazze ye mumyuka oookubiri owa Luweekula.
Ate Omukyala Innocent Nanjego yalondeddwa okuba omumyuka wa Lumaama owookubiri so nga Eseza Nakyeyune ye mumyuka asooka owa Kimbugwe omwami akulembera Buluuli.
Ekiwandiiko kino kiraga nti obuvunaanyizibwa bwa bakulu bano butandikiddewo wakati nga Minisitule ya gavumenti ez’ebitundu egenda kukola entegeka okulaba nga bakkalira mu buvunaanyizibwa buno obuggya.









