
Bya Ssemakula John
Kampala
Akulira ekibiina kya National Unity Platform(NUP) Robert Kyagulanyi amanyiddwa nga Bobi Wine, asabye Ssaabalamuzi Alphonse Owiny-Dollo yeetondere Ssaabasajja Kabaka ku bigambo ebisosola abaganda awamu n’okusiga obukyayi byeyayogedde nga ali mu lumbe lw’ abadde Sipiika Jacob Oulanyah wiiki ewedde.
” Singa Mw. Owiny Dollo abadde akyalinamu ensonyi mu ye, ekintu eky’okukola kyandibadde kwetondera Ssaabasajja Kabaka n’eggwanga lyonna kuba yamwogeddeko eby’obulimba nti yagenda e Germany nga agendera mu nnyonyi y’Obwapulezidenti,” Kyagulanyi bwe yagambye.
Bweyali mu lumbe lwa Oulanyah, Ssaabalamuzi yagamba nti kyali kyabwewusa abantu abamu okwekalakaasa nga bawakanya ekya Oulanyah okutwalibwa mu ggwanga lya Amerika ngate Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II naye yatwalibwa ebweru nga bakozesa ennyonyi y’obwapulezidenti nga tamanyi lwaki ekya Oulanyah kyawawaala nnyo.
Ku nsonga eno, Katikkiro Charles Peter Mayiga yategeezezza bannamawulire ku Lwokutaano oluwedde nti Kabaka teyakozesa nnyonyi ya bwapulezidenti nga Dollo bweyabadde abigweteka wabula yakozesa nnyonyi ya kampuni ya KLM.
Kyagulanyi agattako nti ebigambo by’ekika kino okuva mu kamwa ka Ssaabalamuzi w’eggwanga kibeera kibi era ekikolwa kino kirina okuvumirirwa buli muntu awatali kufaayo ku ggwanga lye. Bobi Wine era ayagala Ssaabalamuzi alage ensi akakung’uta mweyayita okukakasa nti abaali bekalakaasa mu kibuga Seattle baali baganda.
“ Okubeera nti yakulira ekitongole ekiramuzi, Mw. Owiny – Dollo yandibadde akimanyi nti kikyamu okusiiga ekifaananyi ekikakaanya abantu abawamu nga abaganda nga yeesigama ku bikolwa bya bantu abamu bamanyi obulungi nti byebakola tebabikola lwa Buganda wadde okujogerera. Kati abantu abo basonzeemu olunwe ddala basobola okufuna obwenkanya mu kkooti z’akulira,” Bobi Wine bwe yannyonnyodde.
Kyagulanyi agamba nti ebigambo bya Ssaabalamuzi byagendereddwamu okuwugula eggwanga ku kyabadde kigenda mu maaso nga bannansi baagala okumanya ekituufu ekyasse Sipiika Jacob Oulanyah.
Bobi Wine yategeezezza nti wabaddewo enkolagana ennungi wakati wa abantu ba Acholi ne Buganda nga kino kyeyolekera ku nkolagana ya Daudi Ocheng ne Ssekabaka Muteesa II bwatyo nasaba abantu mu ggwanga okunyweza obumu Uganda esobole okugenda mu maaso era ekulaakulane.









