Bya Ssemakula John
Kampala
Abadde Sipiika wa Palamenti Jacob Oulanyah afiiridde mu ggwanga lya Amerika gy’abadde yatwalibwa okufuna obujjanjabi obwenjawulo.
Bino bikakasiddwa Pulezidenti Yoweri Museveni ng’ayita ku mutimbagano n’ategeeza nti amawulire gano yagafuna ku maliri ga leero.
Museveni ategeezezza nti okufa kwa Oulanyah ddibu ddene nnyo eri eggwanga n’ekibiina kya NRM.
Eyaliko Sipiika Rebecca Kadaga ategeezezza nti Kano akaseera kazibu nnyo eri maama w’omugenzi, mukyala we n’abaana be awamu ne Palamenti yonna.
Oulanyah kati omugenzi yabadde omubaka wa disitulikiti ye Omoro mu Palamenti era yafuuka Sipiika oluvannyuma lw’okuwangula Rebecca Kadaga. Oulanyah ye yali amyuuka Kadaga okuva mu mwaka gwa 2011 okutuula mu 2021.
Akulira oludda oluwabula gavumenti mu Palamenti, Owek. Mathias Mpuuga Nsamba naye afulumizzaawo ekiwandiko era n’akubagiza ab’enju ye n’alaga nti ono abadde muntu wa njawulo mu ngeri gy’abadde akubirizaamu Palamenti.









