
Bya Francis Ndugwa
Bulange – Mmengo
Nnabagereka wa Buganda, Sylvia Nagginda akubirizza abakyala okuba abasaale mu kukuuma n’okulwanirira obutonde bw’ensi n’okusiga mu baana enkola ey’okubulwanirira kitaase ebiseera by’eggwanga eby’omu maaso.
Okusaba kuno akukoledde ku mukolo gw’okujaguza olunaku lw’abakyala mu Buganda olubaawo buli 18 /03 wansi w’omulamwa ‘omukyala n’obutonde bw’ensi’ nga guyindidde mu bimuli bya Bulange e Mmengo nga gwetabiddwako abakyala okuva mu masaza gonna aga Buganda.
“Kitukakatako ffe ng’abakyala okubeera ku mwanjo ogulwanirira obutonde bw’ensi yaffe. Abakyala mbasaba buli omu yeebuuze kiki kyakozeewo okukuuma obutonde bw’ensi! Bw’oba tolina ky’okozeewo kaakano kye kiseera okutandika okukuuma obutonde bw’ensi nga yeenyigiramu ng’otandikira mu makaago.” Nnaabagereka bw’ategeezezza.
Maama Nnaabagereka Nagginda asabye abakyala okukubiriza abalala okulwanirira obutonde bw’ensi kuba webutali n’obulamu bubeera tebukyaliwo n’asaba okuyigiriza abaana obukulu bw’obutonde bw’ensi kiyambe okutuuka ku nkulaakulana era beeyambise ennono okutuukiriza kino ng’okukuuma emiziro n’emikolo gy’okwanjula gyebatona emiti.
Nnaabagereka asiimye bonna abeetabye mu mwoleso olw’okwongera ku mutindo era n’akakasa nti byonna ebiragiddwa bitadde obutonde bw’ensi ku mwanjo n’alaga nti lino ly’ekkubo ettuufu eririna okugobererwa.
Ku lwa Katikkiro Charles Peter Mayiga, omumyuka we asooka, Owek. Hajji Twaha Kaawaase Kigongo asiimye Nnaabagereka olw’okufaayo okutaasa ekitiibwa ky’omwana omuwala mu ggwanga.
Owek. Kaawaase alaze ng’obutonde bw’ensi bwe bwongedde okusaanyizibwawo naddala wano mu Buganda ng’abantu buli lukya bongera okwesenza n’okusaanyaawo obutonde ekyongedde okukalubya obulamu.
Ye Minisita avunaanyizibwa ku kikula ky’abantu, eby’obulamu, ebyenjigirizi mu bwakabaka bwa Buganda, Owek. Dr. Prosperous Nankindu Kavuma asabye abakulira ebika mu Buganda okuwa abakyala obukulembeze wakati mu kutambuza emirimu gy’ebika.
Ate Minisita w’ebyobulimi, obulunzi, obwegassi n’obutonde bw’ensi, Owek. Mariam Mayanja Nkalubo Nasejje abangudde abakyala bano ng’essira alitadde ku nsonga nnya, obutatema miti, okuba n’amazzi amayonjo n’ebirala ebitambulirako butonde bw’ensi.
Ku mukolo guno gavumenti eyaawakati ekiikiriddwa Owek. Joyce Nabbosa Ssebugwawo Minisita omubeezi ow’amawulire avumiridde ennyo abasaanyaawo obutonde bw’ensi nga bayita mu bye bakola nga bamanyi nti bibwonoona.
Wabaddewo omukolo gw’okwolesa okuva mu masaza ag’enjawulo era okuggyako Butambala ne Buluuli agataakiikiriddwa era empaka z’okwolesa zigenze okuggwa nga Buweekula esitukidde mu kakadde kalamba ak’ensimbi, ate Kyaggwe ekutte ekyokubiri n’efuna emitwalo 50.
Olunaku lw’ensi yonna lukuzibwa nga 8 March wabula olwa Buganda lukuzibwa buli 18 /03 buli mwaka.









