
Bya Ssemakula John
Mukono – Kyaggwe
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II ng’akolagana wamu ne bannamukago ba Habitat for Humanity asiimye n’azimbira abakyala abeetaavu mu ssaza ly’e Kyaggwe ennyumba okusobola okutumbula embeera zaabwe naddala ez’ensula, kibayambe nabo okweyagalira mu bulamu.
Omutanda yasiimye n’abazimbira ennyumba eziwera ttaano nga buli emu ebaliribwamu obukadde 20 bulamba era zino zaabakwasiddwa Minisita avunaanyizibwa Mariam Mayanja Nkalubo eggulo ku Lwokusatu awamu n’ebintu ebyenjawulo ebibayamba mu bulamu.

Owek. Mariam Mayanja Nkalubo bwe yabadde ayogerako eri abantu ba Ssaabasajja ku kyalo Buwaga mu ggombolola y’e Ssaabawaali Buikwe yabategeezezza nti Obwakabaka bukoze kino n’abantu abalala okulabirako nga bazimba ennyumba ezeefaanyirizaako nga zino.
Ennyumba zino, buli emu erimu ebisenge bibiri n’eddiiro nga kuliko ttanka y’amazzi ne kaabuyonjo nga ziwemmense obukadde 20 era nga baazizimbidde abakyala abaali mu mbeera embi era bano basiimye Omutanda olw’okubafaako.
Zino zizimbiddwa mu ggombolola ya Ssaabawaali Buikwe n’e Ngogwe e Bukunja mu disitulikiti y’e Buikwe.

Owek. Nkalubo era yatuuseeko ku mbuga y’essaza lino esangibwa mu Ggulu mu kibuga ky’e Mukono nga yalambudde n’embuga z’eggombolola ez’enjawulo okuli Mituba V Nyenga, Ssaabawaali Buikwe n’eye Ngogwe n’ayongera okukubiriza abantu ba Kabaka okukola beggye mu bwavu.
Aba Habitat for Humanity nga bakulembeddwamu Brendah Luyiga baategeezezza nti kino bakikoze okukyusa obulamu bw’abantu abali mu mbeera embi era baakugenda mu maaso n’enteekateeka eno okutumbula embeera z’abantu ba Kabaka.









