Bya Musasi Waffe
Kigo – Busiro
Omugagga Hamis Kiggundu amanyiddwa nga ‘Ham’ ne Munywanyi we Nakibinge Edward balemeddeko ku by’okutwala ettaka lya Ssaabasajja Kabaka erisangibwa e Kigo ku kifuba nga kati afunye obukuumi okuva ku poliisi asobole okulemesa aba Buganda Land Board okumusuuza ettaka lino.
Kiggundu yawandiikidde Ssaabaduumizi wa poliisi nga 14/ March/ 2022 ng’agiraga ng’ettaka lino bweriri erirye ng’alina n’ebbaluwa okuva mu kitongole ekikola ku butonde bw’ensi ekya NEMA ekimuwa okukulaakulanya ekitundu kino naye agamba nti enteekateeka zino ziremye olwa Buganda Land Board okumwekiikamu.
Kino kiddiridde Ham ne Nakibinge nga bayita mu kkampuni yaabwe eya Kiham Enterprises okuyiwa ettaka mu kitundu kino wadde ng’ettaka lya Bwakabaka.
Okusinziira ku Bwakabaka bwa Buganda, Ham ne Nakibinge baafuna ekyapa kya Freehold ku Mayiro ya Kabaka block 273 mu ngeri ey’amancoolo era Obwakabaka bwagala ekyapa kino kisazibwemu.
Kitegeerekese nti Ham ne munne Nakibinge baagenda e Wakiso ne bafuna ekyapa ku Mayiro ya Kabaka nga baweebwa obugazi bwa yiika 140 nga kuno kwe bagenda okuzimba ekifo ekisanyukirwamu awamu n’okuwummuliramu.
Ebbaluwa gye tufunyeeko kkopi eraga nti Ham asabye poliisi obukuumi agende mu maaso n’enteekateeka ze ez’okuyiwa ettaka z’agamba nti ekitongole kya Buganda Land Board kye kiziremesezza okuyitamu.
Ekitundu kino Ham mw’ayiwa ettaka kiri wakati w’amayumba g’Obwakabaka aga Mirembe Villas ne Lake Victoria Serena Resort e Kigo.