
Bya Ssemakula John
Kasubi – Kyaddondo
Minisita avunaanyizibwa ku Ennono n’Obuwangwa mu Buganda, Owek. David Kyewalabye Male ategeezezza nti omulimu gw’okuzzaawo ennyumba ya Muzibwazaalampanga gumaliriziddwa ebitundu 80 ku buli 100 ng’akadde konna gagenda kuweebwayo eri Ssaabasajja Kabaka.
Okwogera bino abadde mu masiro g’e Kasubi okujjukira bwe giweze emyaka 12 bukya Masiro gano gookebwa omuliro mu 2010 era ne yeebaza abantu bonna abalina kye bayambye omulimo guno okutambula.
“Mu kusooka kyalowoozebwa nti ennyumba eno esobola okuzzibwawo mangu kuba oli bw’agirengera nga bw’eyimiridde alaba ng’essuubi omuntu ly’asobola okuggya wano. Kino kitawaanyizza nnyo abantu bangi abatamanyi mitendera egigoberera obuwangwa n’ennono za Buganda kuba kyali tekikolebwangako ku mulembe guno.” Owek. Kyewalabye bw’agambye.

Ono annyonnyodde nti okuzzaawo ennyumba eno babadde bakola bagoberera emitendera gyonna egyateekebwawo mu kusooka era akasoobo kajjira ku mutendera gwa kuzimba nga bagoberera ennono n’obuwangwa kuba baalina okunoonya abakwatibwa ku nsonga eno okwewala obufere.
Okusinziira ku minisita w’obuwangwa ennono n’obulambuzi mu Bwakabaka, Owek. David Kyewalabye Male Abaganda kati be basigalidde okuleeta ebikozesebwa omuli essubi n’ebirala omulimu gusobole okuggwa mu budde.
Amasiro g’e Kasubi ky’ekifo eky’ebyobuwangwa omuterekebwa abakulembeze b’Obwakabaka bwa Buganda ab’ensikirano mu kiseera nga bakisizza omukono nga Bassekabaka bawerera ddala 4 okuli; Ssekabaka Muteesa I, Ssekabaka Mwanga Basammulekkere, Daudi Chwa awamu ne Muteesa II nga bonna bali mu kibira kino.
Owek. Kyewalabye annyonnyodde nti amasiro gano gaali gaddaabirizibwa ku mulembe gwa Ssekabaka Daudi Chwa mu 1930 era n’ateekamu ebintu eby’omulembe omuli ebyuma n’ebirala okusobola okutuukana n’omutindo gw’ekiseera ekyo.
Ono asiimye obukiiko obwenjawulo okuviira ddala ku Katikkiro John Baptist Walusimbi eyateekawo akakiiko ka Gwangamujje akaali kakulirwa Omugenzi Jolly Kiwanuka ne Dr. Masagazi Masaazi awamu n’obulala ku mulembe gwa Katikkiro Charles Peter Mayiga.

Mu kiseera kino emulimu gw’okuzzaawo Amasiro gutambula bukwakku ng’amakanda gateereddwa kukumaliriza ennyumba ya Muzibwazaalampanga ng’ezziddwawo mu mbeera yennyini eyaliwo ku mulembe gwa Ssekabaka Muteesa I oluvannyuma lw’ennyumba endala ez’enkizo okuggwa nga Bujjabukula, ez’abakuuma Amasiro wamu ne bugwe.
Minisita Kyewalabye Male agamba nti Abaganda tebalina kutya omulimu gunaatere okuggwa era n’akakasa nti ensonga y’ebyokwerinda eteereddwako essira okwewala ekyatuukawo okuddamu.
Akulira omulimu gw’okusereka Amasiro gano, Wabulaakayole Kakande Micheal ategeezezza nti omulimu si mwangu nga gukyetaaga essubi eriwerera ddala kuba bagasereka mu mitendera egy’enjawulo nga muno mulimu okuteekako enjole, ekiyole awamu ne Wabulaakayole nga ly’essubi erisembayo okunyiriza omulimu.









