
Bya Francis Ndugwa
Bulange e Mmengo
Katikkiro Hajji Twaha Kaawaase Kigongo ategeezezza nti enkulaakulana esobola bulungi okubaawo ng’ebintu ebikulu eby’obuwangwa n’ennono bikuumibwa, kiyambe okukuuma ekitiibwa kya Buganda era esobole okudda ku ntikko.
Okuwabula buno, Owek. Kaawaase akukoze akubagiza ab’Olugave olw’omuti gw’ekika kyabwe ogwa Nabukalu ogwasendeddwa ab’ekitongole ky’ebyenguudo ekya UNRA okuyisaawo ekkubo bw’abadde atikkula Oluwalo okuva mu ggombolola ya Ssaabaddu Kaliisizo Kagolo ku Lwokubiri mu bimuli bya Bulange.
“Bw’okuuma Nakayima ne Nabukalu oba okuuma byaffe, oba okuuma obutonde bw’ensi eno, ffe tulina emiziro gyaffe kati nga nze neddira Nnyonyi Ndisa naye mmanyi nti n’ebinyonyi babiyigganya. Wano tusinga kweddira bimera, binyonyo, bisolo , ebyennyanja kuba obutonde bw’ensi butuli mu musaayi era tubukuuma nny.” Owek. Kaawaase bw’annyonnyodde.
Ono ategeezezza nti abalumbaganyi tebakomye ku kusaanyawo bisolo ng’olugave naye kati olutalo balututte ne ku miti nga Nabukalu ogw’ekika ky’Olugave n’asaba wakati ng’enkulaakulana egenda mu maaso ate ebintu bya Buganda birina okukuumibwa.
Katikkiro asabye bannabuddu bulijjo okusoosowaza ensonga za Buganda era bafube okusiga enkola eno mu baana kuba be basika abagenda okubaawo enkya.
Owek. Kigongo alabudde ku masomero agagaanye okusomesa Oluganda mu masomero n’alabula nti bano bennyini be bali mu kuzza Buganda emabega era n’abawabula bulijjo okulondangako Oluganda nga waliwo omukisa okulonda ku nnimi endala.
“Bwokulaakulana ng’otumbula olulimi lwo, Owangaala bw’otumbula olulimi lwo era n’ogenda mu maaso. Naffe tunyweze Ebyaffe, olulimi lwaffe tulunyweze.” Owek. Kigongo bw’ategeezezza.
Owek. Kaawaase agamba nti okukuuma obutonde bw’ensi kirina kubeera nsonga mu Buganda kuba muno mwe musibuka emiziro gya Buganda egy’enjawulo era n’emiti egimu gimanyiddwa okubeera egy’ennono.
Ate Minisita omubeezi owa gavumenti ez’ebitundu Joseph Kawuki asinzidde wano ne yeebaza bannabuddu olw’okukolera enteekateeka z’Obwakabaka mu budde ekisobozesa emirimu okutambula n’asaba bongere okunnyikiza empeereza mu bantu ba Ssaabasajja Kabaka.
Owek. Kawuki annyonnyodde nti mu luwalo luno omuluka gw’e Kikungwe gwe gunywedde mu mirala gyonna olwendo nga bano bakung’aanyizza ensimbi eziwerera ddala. Ono era asabye bannakaliisizo okufuba okukuuma ettaka nga beebuuza ku kitongole kya Buganda Land Board.
Ssaabaddu Kagolo Kaliisizo y’eggombolola ekyasinze okuleeta Oluwalo lunene mu nsimbi ez’empeke nga bano baleese obukadde 10 n’emitwalo 26 ne ssiringi lukaaga. Omulangira Ghuram Wasajja omwami atwala eggombolola eno alaze obwennyamivu nti bafubye okulima emmwanyi naye bye bawulira okuva mu UCDA bibatiisa.
Bano baweereddwa ekifaananyi ky’empologoma ya Buganda Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II n’ebintu ebirala wabula basoose ku nnyonnyolwa ku nkola ya yinsuwa ya Weerinde.









